Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ku ntandikwa, Katonda yatonda eggulu n'ensi. |
| 2 |
| Ensi yali mu mbeera eyeetabuddetabudde, era nga njereere. Ekizikiza kyali kibuutikidde oguyanja, n'omwoyo gwa Katonda gwali gwetawulira ku mazzi. |
| 3 |
| Awo Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ekitangaala.” Ne wabaawo ekitangaala, |
| 4 |
| Katonda n'alaba ng'ekitangaala kirungi. N'ayawula ekitangaala ku kizikiza. |
| 5 |
| Ekitangaala n'akiyita “Emisana,” ate ekizikiza n'akiyita “Ekiro.” Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olubereberye. |
| 6 |
| Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ebbanga wakati w'amazzi, ligaawulemu.” |
| 7 |
| N'ateekawo ebbanga, n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga, n'agali waggulu waalyo. Ne kiba bwe kityo. |
| 8 |
| Ebbanga n'aliyita “Eggulu.” Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokubiri. |
| 9 |
| Katonda n'agamba nti: “Amazzi agali wansi w'eggulu, gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike.” Ne kiba bwe kityo. |
| 10 |
| Olukalu n'aluyita “Ensi,” ate ekkuŋŋaaniro ly'amazzi, n'aliyita “Ennyanja.” Katonda n'alaba nga birungi. |
| 11 |
| Era n'agamba nti: “Ensi emere ebimera ebya buli ngeri, ebeeremu omuddo ogubala ensigo, n'emiti egy'ebibala ebirimu ensigo, ng'ebika byabyo bwe biri.” Ne kiba bwe kityo. |
| 12 |
| Awo ensi n'emera ebimera ebya buli ngeri: omuddo ogubala ensigo, ng'ebika byagwo bwe biri, ne miti egy'ebibala bwe gityo. Katonda n'alaba nga birungi. |
| 13 |
| Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokusatu. |
| 14 |
| Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu, byawulenga emisana n'ekiro, era biragenga ebiseera by'obudde, n'ennaku, n'emyaka, |
| 15 |
| byakirenga mu bbanga ery'eggulu, bimulise ensi.” Ne kiba bwe kityo. |
| 16 |
| Awo Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene, ekisinga obunene kifugenga emisana, ate ekitono kifugenga ekiro, era n'akola n'emmunyeenye. |
| 17 |
| Katonda n'abiteeka mu bbanga ery'eggulu, bimulisenga ensi, |
| 18 |
| bifugenga emisana n'ekiro, era byawulenga ekitangaala n'ekizikiza. Katonda n'alaba nga birungi. |
| 19 |
| Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokuna. |
| 20 |
| Katonda n'agamba nti: “Ekkuŋŋaaniro ly'amazzi lijjulemu ebiramu ebyewalula, n'ensi ebeeremu ebiramu ebibuuka mu bbanga.” |
| 21 |
| Katonda n'atonda agasolo aganene ag'omu nnyanja, n'ebitonde byonna ebya buli ngeri ebibeera mu mazzi, n'ebibuuka mu bbanga. Katonda n'alaba nga birungi. |
| 22 |
| N'abiwa omukisa, n'agamba nti: “Muzaale mwale, mujjuze ennyanja. N'ebibuuka mu bbanga byale mu nsi.” |
| 23 |
| Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokutaano. |
| 24 |
| Katonda n'agamba nti: “Ensi esibukemu ebiramu ebya buli ngeri, ensolo ezifugibwa, n'ez'omu ttale, ennene n'entono, n'ebyewalula.” Ne kiba bwe kityo. |
| 25 |
| Katonda n'akola ebyo byonna, era n'alaba nga birungi. |
| 26 |
| Katonda n'agamba nti: “Tukole abantu abali nga ffe, nga batufaanana, bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka mu bbanga, n'ebyewalula ku ttaka, n'ensolo era n'ensi yonna.” |
| 27 |
| Awo Katonda n'atonda abantu abali nga ye, n'abatonda nga bamufaanana. Yabatonda omusajja n'omukazi, |
| 28 |
| n'abawa omukisa, ng'agamba nti: “Muzaale mwale, mujjuze ensi, mugifuge. Mulabirirenga eby'omu nnyanja, n'ebibuuka mu bbanga n'ebiramu byonna ebyetawulira ku nsi.” |
| 29 |
| Katonda n'agamba nti: “Mbawadde ebimera byonna ebiri ku nsi, ebibala ensigo, era n'emiti gyonna egibala, bibeerenga emmere yammwe. |
| 30 |
| Ensolo zonna n'ennyonyi nziwadde omuddo n'amakoola, bibeerenga emmere yaabyo.” Ne kiba bwe kityo. |
| 31 |
| Katonda n'atunula ku buli ky'akoze, n'alaba nga kirungi nnyo. Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olw'omukaaga. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/genesis/001.mp3
50
1