×

Luganda Bible 2003

Olubereberye 10

1
Bano be bazzukulu b'abaana ba Noowa. Seemu, Haamu ne Yafeeti, abo abasatu baazaala abaana ng'omujjuzo gw'amazzi gumaze okubaawo.
2
Abaana ba Yafeeti be bano: Gomeri, Magogi, Madayi, Yavani, Tubali, Meseki, ne Tirasi.
3
Abaana ba Gomeri, ye Asukenaazi, ne Rifati, ne Togaruma.
4
Abaana ba Yavani be bano: Elisa, Tarusiisi, Kittimu, ne Dodanimu.
5
Abo be baasibukamu abantu abali ku lubalama lw'ennyanja, ne ku bizinga. Abo be bazzukulu ba Yafeeti, nga bwe bali mu bika byabwe, ne mu mawanga gaabwe, era ne mu nnimi zaabwe ze boogera.
6
Abaana ba Haamu be bano: Kuusi, Misiri, Libiya ne Kanaani.
7
Abaana ba Kuusi be bano: Seba ne Avila, Sabuta, ne Raama, ne Sabuteka. Abaana ba Raama, ye Seba ne Dedani.
8
Kuusi ye kitaawe wa Nimuroodi eyasooka okuba omusajja omuzira ku nsi.
9
Yayambibwa Mukama, n'aba muyizzi muzira. Abantu kyebaavanga bagamba nti: “Mukama akufuule muyizzi muzira nga Nimuroodi!”
10
Mu kusooka, obwakabaka bwe bwali buzingiramu Babeeli, Ereki, ne Akaadi, byonna eby'omu nsi Sinaari.
11
Bwe yava mu nsi eyo, n'alaga mu Assiriya, n'azimba ebibuga Nineeve, Rehoboti Iri, Kala,
12
ne Reseni, ekiri wakati wa Nineeve, n'ekibuga ekinene Kala.
13
Misiri n'azaala Ludiimu ne Anamiimu ne Lehabiimu, ne Nafutuhiimu ne
14
Paturusiimu ne Kasilukimu, abaasibukamu Abafilistiya ne Kafutorimu.
15
Kanaani n'azaala Sidoni, omwana we omubereberye, ne Keeti.
16
Kanaani era ye yasibukamu Abayebusi n'Abaamori, n'Abagirugaasi,
17
n'Abahiivi, n'Abasiini,
18
n'Abaruvaadi, n'Abazemari, n'Abahamati. Awo ebika by'Abakanaani we byava okubuna,
19
ensalo z'ensi yaabwe ne ziva e Sidoni okwolekera Gerari, okumpi ne Gaaza, ne zituuka e Sodoma ne Gomora, ne Aduma, ne Beboyimu, okumpi ne Lasa.
20
Abo be bazzukulu ba Haamu mu bika byabwe ne mu nsi zaabwe, buli bamu n'olulimi lwabwe lwe boogera.
21
Ne Seemu mukulu wa Yafeeti, era jjajja w'abaana ba Eberi, n'azaala abaana.
22
Abaana be, be bano: Elamu, Assuri, Arupakusaadi, Ludi ne Aramu.
23
Abaana ba Aramu ye: Wuuzi, Kuuli, Geteri ne Maasi.
24
Arupakusaadi ye azaala Seela, kitaawe wa Eberi.
25
Eberi yalina abaana babiri, omu nga ye Pelegi, kubanga mu mulembe gwe ensi mwe zaayawulibwamu, omulala nga ye Yokutaani.
26
Yokutaani n'azaala Alumodaadi ne Selefu, ne Azarumaveeti, ne Yera,
27
ne Adoramu, ne Wuuzali, ne Dikula,
28
ne Obali, ne Abimayeli, ne Seba,
29
ne Ofiri ne Avila, ne Yobabu. Abo bonna baana ba Yokutaani.
30
Ensi mwe baali, yava ku Mesa, n'etuuka ku Sefari, ensi ey'ensozi mu buvanjuba.
31
Abo be bazzukulu ba Seemu, mu bika byabwe ne mu nsi zaabwe, buli bamu n'olulimi lwabwe lwe boogera.
32
Abantu abo bonna be bazzukulu ba Noowa, nga bwe bali mu bika byabwe ne mu mawanga gaabwe. Era mu abo mwe mwava amawanga ne gasaasaanira ensi, ng'omujjuzo gw'amazzi gumaze okubaawo.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes