1
Awo Mukama n'agamba Aburaamu nti: “Va mu nsi yo, oleke baganda bo n'ennyumba ya kitaawo, ogende mu nsi gye ndikulaga.
2
Ndikuwa abazzukulu bangi, abaliba eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, era ndikuza erinnya lyo, obeerenga wa mukisa.
3
Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa, era ndikolimira oyo alikukolimira. Era mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.
4
Awo Aburaamu bwe yali awezezza emyaka nsanvu mu etaano egy'obukulu, n'ava mu Harani, nga Mukama bwe yamugamba. Ne Looti n'agenda naye.
5
Aburaamu n'atwala mukazi we Saraayi, ne Looti omwana wa muganda we, n'ebintu byabwe byonna bye baalina, n'abantu bonna be baafunira mu Harani, ne batambula okutuuka mu nsi y'e Kanaani. Bwe baatuuka mu Kanaani,
6
Aburaamu n'ayita mu nsi eyo, n'atuuka mu kifo ky'e Sekemu, awali omuvule gwa More. Mu biseera ebyo, Abakanaani baali bakyali mu nsi eyo.
7
Mukama n'alabikira Aburaamu n'agamba nti: “Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno.” Aburaamu n'azimbira eyo alutaari Mukama eyamulabikira.
8
N'avaayo n'alaga ku lusozi, ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Beteli, n'asimba eweema ye, nga Beteli kiri ebugwanjuba, ate nga Ayi kiri ebuvanjuba. Era n'eyo n'azimbayo alutaari, n'asinza Mukama.
9
Aburaamu n'ayongera okutambula, ng'ayolekedde ebukiikaddyo obwa Kanaani.
10
Ne wagwa enjala mu nsi eyo, Aburaamu n'aserengeta mu Misiri, agira abeera eyo, kubanga enjala yali nnyingi mu Kanaani.
11
Bwe yali ng'anaatera okuyingira mu Misiri, n'agamba mukazi we Saraayi nti: “Mmanyi ng'oli mukazi mubalagavu.
12
Kale Abamisiri bwe banaakulaba, bajja kugamba nti: ‘Oyo mukazi we.’ Olwo nze banzite, naye ggwe bakuleke ng'oli mulamu.
13
Nkwegayiridde gamba nti oli mwannyinaze, balyoke bampise bulungi, era obulamu bwange buwone ku lulwo.”
14
Awo Aburaamu bwe yayingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba omukazi nga mulungi nnyo.
15
N'abakungu b'omu lubiri bwe baamulaba, ne bamutendera kabaka, era ne bamutwala mu nnyumba ya kabaka.
16
Olwa Saraayi oyo, kabaka n'ayisa bulungi Aburaamu n'amuwa ente n'endiga, n'embuzi, n'endogoyi, abaddu n'abazaana, n'eŋŋamiya.
17
Naye kubanga kabaka yatwala Saraayi muka Aburaamu, Mukama n'aleetera kabaka n'ab'omu nnyumba ye endwadde ez'amaanyi, ezaababonyaabonya.
18
Awo kabaka n'atumya Aburaamu, n'amugamba nti: “Kiki kino ky'onkoze? Lwaki tewambuulira nti mukazi wo?
19
Lwaki wagamba nti mwannyoko, nze ne mmufuula mukazi wange? Kale mukazi wo wuuyo, mutwale, ogende.”
20
Awo kabaka, n'alagira basajja be, ne bawerekera Aburaamu ne mukazi we, ne byonna bye yalina.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.