×

Luganda Bible 2003

Olubereberye 13

1
Aburaamu n'ayambuka, n'ava mu Misiri, ng'ali ne mukazi we, ne byonna bye yalina, n'alaga mu bukiikaddyo obwa Kanaani. Ne Looti n'agenda naye.
2
Aburaamu yalina obugagga bungi: ente n'endiga n'embuzi, ne ffeeza, ne zaabu.
3
N'ava e Negebu n'atambula ng'ayolekedde Beteli. N'atuuka mu kifo ekiri wakati wa Beteli ne Ayi, eweema ye we yasooka okubeera,
4
era we yazimba alutaari. Aburaamu n'asinziza eyo Mukama.
5
Era ne Looti eyagenda ne Aburaamu, yalina endiga n'embuzi n'ente ne weema.
6
N'olwekyo tewaali kifo kibamala okubeera awamu, kubanga baalina ebintu bingi.
7
Ne wasitukawo enkaayana wakati w'abasumba ba Aburaamu n'abasumba ba Looti. Era mu kiseera ekyo Abakanaani n'Abaperizi baali bakyali mu nsi eyo.
8
Awo Aburaamu n'agamba Looti nti: “Waleme kubaawo nkaayana wakati wo nange, wadde wakati w'abasumba bo n'abange, kubanga tuli baaluganda.
9
Ensi yonna yiiyo! Twawukane. Bw'oneeroboza oludda olwa kkono, nze nadda ku lwa ddyo. Bw'oneeroboza oludda olwa ddyo, nze nadda ku lwa kkono.”
10
Looti ne yeebunguluza amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yorudaani lwonna, okutuukira ddala e Zowari, nga lulimu amazzi mangi, nga luli ng'ennimiro ya Mukama oba ng'ensi y'e Misiri. Mu kiseera ekyo, Mukama yali tannazikiriza Sodoma ne Gomora.
11
Awo Looti, ne yeeroboza olusenyi lwonna olwa Yorudaani, n'atambula ng'ayolekedde obuvanjuba. Ne baawukana.
12
Aburaamu n'abeera mu nsi y'e Kanaani. Looti n'abeera mu bibuga eby'omu lusenyi, n'asimba eweema ye okumpi ne Sodoma.
13
Abantu b'omu Sodoma baali babi, nga boonoonyi nnyo mu maaso ga Mukama.
14
Looti bwe yamala okwawukana ne Aburaamu, Mukama n'agamba Aburaamu nti: “Weebunguluze amaaso go, otunule ku buli ludda ng'osinziira mu kifo mw'oli.
15
Ndikuwa ggwe n'ezzadde lyo ensi eyo yonna gy'olaba, ebe yiyo emirembe gyonna.
16
Ndikuwa abazzukulu bangi ng'enfuufu eri ku nsi, era oba nga waliwo ayinza okubala enfuufu eri ku nsi, ne bazzukulu bo bwe baliyinza okubalibwa.
17
Situka olambule ensi eyo yonna, kubanga ndigikuwa.”
18
Aburaamu n'ajjulula eweema ye, n'ajja n'abeera mu Heburooni, okumpi n'emivule gya Mamure. N'azimbira eyo Mukama alutaari.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes