1
Ibulaamu n'ayambuka ne mukazi we, ne Lutti, n'ebyabwe byonna okuva mu Misiri; ne bagenda mu bukiikaddyo obwa Kanani.
2
Era Ibulaamu yalina obugagga bungi: ente, effeeza, ne zaabu.
3
N'agenda ng'atambula n'ava mu bukiikaddyo n'atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye mwe yasooka okubeera, wakati w'e Beseri ne Ayi;
4
mu kifo eky'ekyoto kye yakola eyo olubereberye; n'asinziza eyo erinnya lya Mukama.
5
Era ne Lutti, eyagenda ne Ibulaamu, yalina embuzi n'ente n'eweema.
6
Ensi n'etabamala bombi okutuula awamu; kubanga ebintu byabwe byali bingi.
7
Ne wabalukawo enkaayana wakati w'abasumba b'ente za Ibulaamu n'abasumba b'ente za Lutti. Era Omukanani n'Omuperizi baali ba kyatuula mu nsi eyo mu nnaku ezo.
8
Ibulaamu n'agamba Lutti nti, “Nkwegayiridde waleme okubaawo okukaayana wakati wange naawe ne wakati w'abasumba bange n'ababo; kubanga tuli ba luganda.
9
Ensi yonna teri mu maaso go? Kale nkwegayiridde twawukane. Bw'oneeroboza omukono ogwa kkono, nze n'agenda ku gwa ddyo. Bw'oneeroboza ogwa ddyo, nze n'agenda ku gwa kkono.”
10
Lutti n'ayimusa amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yoludaani lwonna, okutuukira ddala e Zowaali, nga lulimu amazzi mangi, nga lufaanana ng'olusuku lwa Mukama, oba ng'ensi y'e Misiri. Mu kiseera ekyo, Mukama yali tannazikiriza Sodoma ne Gomora.
11
Awo Lutti ne yeeroboza olusenyi lwonna olwa Yoludaani, n'atambula ng'ayolekedde obuvanjuba; ne baawukana ne Ibulaamu.
12
Ibulaamu n'atuula mu nsi ya Kanani, ne Lutti n'atuula mu bibuga eby'omu lusenyi, n'ajjulula eweema ye n'agituusa e Sodoma.
13
N'abantu ab'omu Sodoma baali babi era boonoonyi nnyo nnyini mu maaso ga Mukama.
14
Mukama n'agamba Ibulaamu, Lutti bwe yamala okwawukana naye, nti, “Yimusa kaakano amaaso go, otunule ng'oyima mu kifo mw'oli, obukiikakkono n'obwaddyo n'ebuvanjuba n'ebugwanjuba;
15
kubanga ensi yonna gy'olabye, ndigikuwa ggwe, n'ezzadde lyo emirembe gyonna.
16
Era ndifuula n'ezzadde lyo ng'enfuufu ey'oku nsi; era oba nga waliwo ayinza okubala enfuufu eri ku nsi, oyo mpozzi y'aliyinza okubabala.
17
Situka olambule ensi eyo yonna, kubanga ndigikuwa.”
18
Ibulaamu n'ajjulula eweema ye, n'ajja n'atuula awali emivule gya Mamule egiri mu Kebbulooni, n'azimbira Mukama eyo ekyoto.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.