ne balwana ne Bbeera, kabaka w'e Sodoma, ne Bbiruusa, kabaka w'e Ggomola, Sinaabu, kabaka w'e Aduma, ne Semebeeri, kabaka w'e Zeboyiyimu, ne kabaka w'e Bera (ye Zowaali).
Ne mu mwaka ogw'ekkumi n'ena Kedolawomeeri n'ajja, ne bakabaka abaali awamu naye, ne bakubira Abaleefa mu Asuterosikalumayimu, n'Abazuuzi mu Kaamu, n'Abemi mu Savekiriyasayimu,
Ne watabaala kabaka w'e Sodoma, ne kabaka w'e Ggomola, ne kabaka w'e Aduma, ne kabaka w'e Zeboyiyimu, ne kabaka w'e Bera (ye Zowaali); ne bategeka olutalo okulwanira nabo mu kiwonvu Sidimu;
Era ekiwonvu Sidimu kyali kijjudde obunnya obw'ebitosi; ne bakabaka w’e Sodoma ne Ggomola ne badduka, ne bagwa omwo, n'abo abaasigalawo ne baddukira ku lusozi.
Ne wajja omu eyawonawo, n'abuulira Ibulaamu Omwebbulaniya: oyo yatuulanga awali emivule gya Mamule Omwamoli, muganda wa Esukoli, era muganda wa Aneri; nabo baali nga balagaanye ne Ibulaamu.
Ibulaamu bwe yawulira nga baanyaga muganda we, n'agenda ne basajja be abaayigirizibwa okulwana, abaazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi mu munaana, ne babagoberera okutuusa ku Ddaani.