|
| 1 |
|
| Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti, “Totya Ibulaamu, Nze ngabo yo era empeera yo ennene ennyo.” |
|
| 2 |
|
| Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?” |
|
| 3 |
|
| Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.” |
|
| 4 |
|
| Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.” |
|
| 5 |
|
| N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.” |
|
| 6 |
|
| Ibulaamu n’akkiriza Mukama, n’akimubalira okuba obutuukirivu. |
|
| 7 |
|
| N’amugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ensi ey’Abakaludaaya, nkuwe ensi eno ebeere yiyo.” |
|
| 8 |
|
| Ibulaamu n’addamu nti, “Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?” |
|
| 9 |
|
| Mukama n’amuddamu nti, “Ndeetera ennyana eyaakamala emyaka esatu, embuzi ey’emyaka esatu, endiga ensajja ey’emyaka esatu, kaamukuukulu n’ejjiba.” |
|
| 10 |
|
| Ibulaamu n’abireeta byonna n’abisalamu wakati n’ateeka buli kitundu kungulu ku kinnaakyo, naye ebinyonyi byo teyabisalamu bitundu nga biri. |
|
| 11 |
|
| Ensega bwe zajja okubirya, Ibulaamu n’azigoba. |
|
| 12 |
|
| Enjuba yali egwa, Ibulaamu ne yeebaka otulo tungi; era laba, ekizikiza ekingi eky’amaanyi ne kimubuutikira. |
|
| 13 |
|
| Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Manyira ddala nti ezzadde lyo baliba batambuze mu nsi eteri yaabwe, era baliba baddu eyo, balibonyaabonyezebwa eyo okumala emyaka ebikumi bina. |
|
| 14 |
|
| Naye ndibonereza eggwanga lye balikolera n’oluvannyuma balivaayo n’obugagga bungi. |
|
| 15 |
|
| Naye ggwe oligenda mirembe eri bajjajjaabo; oliziikibwa ng’owangaalidde ddala nnyo. |
|
| 16 |
|
| Era balikomawo wano mu mulembe ogwokuna; kubanga obutali butuukirivu bw’Omwamoli tebunnayitirira.” |
|
| 17 |
|
| Enjuba bwe yagwa ng’ekizikiza kikutte, laba, ensuwa eyaka omuliro era enyooka omukka n’ekimulisa ne biyita wakati w’ebitundu bino. |
|
| 18 |
|
| Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati: |
|
| 19 |
|
| Omukeeni, n’Omukenizi, n’Omukadumoni, |
|
| 20 |
|
| n’Omukiiti, n’Omuperizi, n’Abaleefa, |
|
| 21 |
|
| n’Omwamoli, n’Omukanani, n’Omugirugaasi n’Omuyebusi, mbagabula mu mukono gwo.” |
|
|
|
|