|
| 1 |
|
| Saraayi muka Aburaamu, teyazaalira bba mwana. Kyokka yalina omuzaana Omumisiri, erinnya lye Agari. |
|
| 2 |
|
| Saraayi n'agamba Aburaamu nti: “Mukama anziyizza okuzaala. Twala omuzaana wange, oboolyawo alinzaalira abaana.” Aburaamu n'akkiriza Saraayi by'amugambye. |
|
| 3 |
|
| Aburaamu bwe yali nga yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanaani, mukazi we Saraayi n'amuwa Agari omuzaana we Omumisiri, abe mukazi we. |
|
| 4 |
|
| Aburaamu ne yeegatta ne Agari, Agari n'aba olubuto. Agari, bwe yalaba ng'ali lubuto, n'anyooma mugole we. |
|
| 5 |
|
| Saraayi n'agamba Aburaamu nti: “Ekibi ekinkoleddwa kiddire ggwe. Nakuwa omuzaana wange. Kale bwe yalaba ng'ali lubuto, n'annyooma. Mukama asalewo omutuufu wakati wo nange.” |
|
| 6 |
|
| Aburaamu n'agamba Saraayi nti: “Ndaba ono muzaana wo, era ali mu mikono gyo! Mukole ky'oyagala!” Awo Saraayi n'akambuwalira nnyo Agari, Agari n'amuddukako. |
|
| 7 |
|
| Awo malayika wa Mukama n'asisinkana Agari awali oluzzi mu ddungu, mu kkubo eriraga e Suuri. |
|
| 8 |
|
| N'agamba nti: “Agari, omuzaana wa Saraayi, ova wa, era ogenda wa?” Agari n'amuddamu nti: “Nziruka mugole wange Saraayi.” |
|
| 9 |
|
| Malayika wa Mukama n'amugamba nti: “Ddayo eri mugole wo, omugonderenga.” |
|
| 10 |
|
| Malayika wa Mukama era n'amugamba nti: “Ndikuwa abazzukulu bangi nnyo, abatasobola na kubalika. |
|
| 11 |
|
| Kaakati oli lubuto, era ojja kuzaala omwana wa bulenzi era omutuume erinnya Yisimayeli, kubanga Mukama awulidde okukaaba kwo mu buyinike. |
|
| 12 |
|
| Naye mutabani wo aliba ng'entulege. Anaalwanagananga na buli muntu, era buli muntu anaalwanagananga naye, era aneeyawulanga ku baganda be.” |
|
| 13 |
|
| Agari n'ayita Mukama eyayogera naye, nti: “Katonda alaba. ” Kubanga yagamba nti: “Ddala ndabye ku Katonda, ne nsigala nga ndi mulamu?” |
|
| 14 |
|
| Oluzzi olwo oluli wakati wa Kadesi ne Beredi kyerwava luyitibwa “Oluzzi lw'Omulamu Andaba.” |
|
| 15 |
|
| Agari n'azaalira Aburaamu omwana ow'obulenzi, Aburaamu n'amutuuma erinnya Yisimayeli. |
|
| 16 |
|
| Olwo Aburaamu yali aweza emyaka kinaana mu mukaaga. |
|
|
|
|