|
| 1 |
|
| Salaayi mukyala wa Ibulaamu yali teyamuzaalira mwana; |
|
| 2 |
|
| Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye.” Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi. |
|
| 3 |
|
| Bw’atyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali Omumisiri, omuweereza we n’amuwa Ibulaamu abeere mukazi we. |
|
| 4 |
|
| Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n’aba olubuto. Agali bwe yalaba ng’ali lubuto, n’anyooma Salaayi, mugole we. |
|
| 5 |
|
| Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bw’alabye ng’ali lubuto n’annyooma. Mukama atulamule nze naawe!” |
|
| 6 |
|
| Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali. |
|
| 7 |
|
| Malayika wa Mukama n’amusanga ku nsulo y’amazzi mu ddungu, ensulo y’amazzi eri ku kkubo eriraga e Ssuuli. |
|
| 8 |
|
| N’agamba nti, “Agali, omuweereza wa Salaayi, ovudde wa era ogenda wa?” N’amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.” |
|
| 9 |
|
| Malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Ddayo eri mugole wo omugondere.” |
|
| 10 |
|
| Era Malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Ezadde lyo ndiryaza waleme kubeerawo asobola kulibala.” |
|
| 11 |
|
| Ate malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Laba, olina omwana mu nda yo, aliba wabulenzi, olimutuuma Isimayiri, kubanga Mukama ategedde okubonaabona kwo. |
|
| 12 |
|
| Aliba ng’entulege, anaalwananga na buli muntu era na buli muntu anaalwananga naye, era anaabanga mu bulabe ne baganda be.” |
|
| 13 |
|
| Awo n’akoowoola erinnya lya Mukama eyayogera naye, n’agamba nti, “Oli Katonda alaba”, kubanga yagamba nti, “Ndabidde ddala Katonda ne nsigala nga ndi mulamu nga maze okumulaba.” |
|
| 14 |
|
| Oluzzi kye lwava luyitibwa Beerirakayiro, luli wakati wa Kadesi ne Beredi. |
|
| 15 |
|
| Awo Agali n’azaalira Ibulaamu omwana owoobulenzi, Ibulaamu n’atuuma mutabani wa Agali gwe yamuzaalira, erinnya Isimayiri. |
|
| 16 |
|
| Ibulaamu yali wa myaka kinaana mu mukaaga Agali bwe yamuzaalira Isimayiri. |
|
|
|
|