Ne Bamalayika babiri ne batuuka e Sodomu akawungeezi; ne Lutti yali atudde mu mulyango ogw'e Sodoma: Lutti n'abalaba, n'agolokoka okubasisinkana; n'avuunama amaaso ge
Ne boogera nti Vaawo. Ne boogera nti Olusajja luno lwayingira okuba omugenyi, naye kirugwanira okuba omulamuzi: kaakano tunakukola ggwe bubi okusinga abo. Ne bamunyigiriza nnyo omusajja, ye Lutti, ne basembera okumenya oluggi.
Abasajja ne bagamba Lutti nti Olina nate wano abalala? mukoddomi wo, n'abaana bo, ab'obulenzi n'ab'obuwala, ne bonna b'olina mu kibuga; bafulumye mu kifo muno:
Lutti n'afuluma n'ayogera ne bakoddomi be, abaawasa abawala be, n'agamba nti Mugolokoke, muve mu kifo kino; kubanga Mukama anaazikiriza ekibuga. Naye yaliŋŋanga asaaga eri bakoddomi be.
Awo bwe bwakya enkya, bamalayika ne bamwanguyiriza Lutti, nga boogera nti Golokoka, otwale mukazi wo, n'abaana bo abawala bombi abali wano: oleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu obw'ekibuga.
Naye n’alwa; abasajja ne bamukwata ku mukono gwe, ne ku mukono gwa mukazi we, ne ku mukono gw'abaana be abawala bombi; Mukama ng'atusaasira: ne bamuggyamu, ne bamuleeta ebweru w'ekibuga.
Awo bwe baamala okubaggiramu ddala, n'ayogera nti Dduka oleme okufa; totunula nnyuma wo, so tolwa mu lusenyi lwonna; ddukira ku lusozi, oleme okuzikirizibwa.
laba nno, omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, era ogulumizizza okusaasira kwo, kw'ondaze ng'omponya nneme okufa; ne siyinza kuddukira ku lusozi luno, akabi kaleme okuntuukako ne nfa:
Lutti n'alinnya n'ava mu Zowaali, n'atuula ku lusozi, n'abaana be abawala bombi naye; kubanga n'atya okutuula mu Zowaali: n'atuula mu mpuku, n'abaana be abawala bombi.