|
| 1 |
|
| Bwe bityo eggulu n'ensi, n'ebibirimu byonna, ne biggwa okukola. |
|
| 2 |
|
| Ku lunaku olw'omusanvu, Katonda n'amala emirimu gye gyonna gye yakola, n'awummula ku lunaku olwo olw'omusanvu. |
|
| 3 |
|
| N'awa omukisa olunaku olw'omusanvu, n'alutukuza, kubanga ku lunaku olwo, kwe yamalira okutonda, n'alekera awo okukola. |
|
| 4 |
|
| Bwe bityo eby'omu ggulu n'eby'oku nsi bwe byatondebwa. Mukama Katonda lwe yakola ensi n'eggulu, |
|
| 5 |
|
| waali tewannabaawo miti wadde ebimera ebirala ku nsi, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesaako nkuba, era nga tewali muntu alima ensi. |
|
| 6 |
|
| Naye amazzi gaavanga mu ttaka, ne gannyikiza ensi. |
|
| 7 |
|
| Awo Mukama Katonda n'abumba omuntu mu nfuufu y'ettaka, n'amufuuwa mu nnyindo omukka ogw'obulamu, omuntu n'atandika okuba omulamu. |
|
| 8 |
|
| Awo Mukama Katonda n'asimba ennimiro mu Edeni, ku ludda olw'ebuvanjuba, n'ateeka omwo omuntu gwe yabumba. |
|
| 9 |
|
| N'ameza omwo buli muti ogusanyusa okulaba, era ogubala ebibala ebiwooma. Mu nnimiro wakati mwalimu omuti oguleeta obulamu, n'omuti oguleeta okumanya ekirungi n'ekibi. |
|
| 10 |
|
| Omugga ne gusibuka mu Edeni okufukiriranga ennimiro, ne gweyawulamu, ne gufuuka emigga ena. |
|
| 11 |
|
| Ogusooka, erinnya lyagwo Pisoni. Ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Havila, erimu zaabu. |
|
| 12 |
|
| Ddala ensi eyo erimu zaabu omulungi, n'ebyakawoowo ebitasangikasangika, era n'amayinja ag'omuwendo! |
|
| 13 |
|
| Erinnya ly'omugga ogwokubiri, Giboni. Ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kuusi. |
|
| 14 |
|
| Omugga ogwokusatu ye Tigiriisi, oguyita ebuvanjuba bwa Assiriya. N'omugga ogwokuna ye Ewufuraate. |
|
| 15 |
|
| Awo Mukama Katonda n'atwala omuntu, n'amuteeka mu nnimiro ey'e Edeni agirimenga, era agirabirirenga. |
|
| 16 |
|
| N'amugamba nti: “Buli muti ogw'omu nnimiro, olyangako nga bw'onooyagalanga. |
|
| 17 |
|
| Naye omuti oguleeta okumanya ekirungi n'ekibi togulyangako, kubanga olunaku lw'oligulyako, tolirema kufa.” |
|
| 18 |
|
| Awo Mukama Katonda n'agamba nti: “Si kirungi omuntu okubeera yekka. Nja kumukolera omubeezi amusaanira.” |
|
| 19 |
|
| Mukama Katonda kyeyava addira ettaka n'akolamu ensolo zonna n'ebibuuka mu bbanga, n'abireetera omuntu okulaba bw'anaabiyita, era buli kiramu, erinnya lye yakiyita, lye lyaba erinnya lyakyo. |
|
| 20 |
|
| Omuntu n'atuuma amannya buli nsolo na buli ekibuuka mu bbanga, naye nga tannazuula mubeezi amusaanira. |
|
| 21 |
|
| Awo Mukama Katonda ne yeebasa omusajja otulo tungi. N'amuggyamu olubiriizi lumu, n'ajjuzaamu ennyama mu kifo kyalwo. |
|
| 22 |
|
| Olubiriizi olwo lw'aggye mu musajja, n'alukolamu omukazi, n'amumuleetera. |
|
| 23 |
|
| Omusajja n'agamba nti: “Ddala ono ye muntu munnange, lye ggumba erivudde mu magumba gange, gwe mubiri oguvudde mu mubiri gwange. Anaayitibwanga mukazi, kubanga aggyiddwa mu musajja. ” |
|
| 24 |
|
| Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we, ne baba omuntu omu. |
|
| 25 |
|
| Omusajja ne mukazi we bombiriri baali bwereere, naye tebaakwatibwa nsonyi. |
|
|
|
|