|
| 1 |
|
| Bwe bityo eggulu n’ensi awamu ne byonna ebigirimu ne biggwa okukolwa. |
|
| 2 |
|
| Ku lunaku olw’omusanvu Katonda yali amaze ebyo byonna bye yali akola; n’awummulira ku lunaku olwo ng’ava ku mirimu gye gyonna gye yakola. |
|
| 3 |
|
| Bw’atyo Katonda olunaku olw’omusanvu n’aluwa omukisa n’alutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda. |
|
| 4 |
|
| Ebyo bye bifa ku ggulu n’ensi nga bwe byatondebwa, Mukama Katonda we yamalira okutonda eggulu n’ensi. |
|
| 5 |
|
| Tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu ow’okulima ettaka. |
|
| 6 |
|
| Naye ensulo n’eva mu ttaka n’efukirira ensi yonna. |
|
| 7 |
|
| Mukama Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu. |
|
| 8 |
|
| Mukama Katonda yali asimbye ennimiro Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba, omuntu gwe yabumba n’amuteeka omwo. |
|
| 9 |
|
| Mukama Katonda n’ameza mu ttaka buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya. N’ateeka omuti ogw’obulamu, n’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi wakati mu nnimiro. |
|
| 10 |
|
| Omugga ne gusibuka mu nnimiro Adeni ne gukulukuta okulufukirira, ne gwanjaalira omwo ne guvaamu emigga ena. |
|
| 11 |
|
| Erinnya ly’ogusooka Pisoni, gwe gwo ogukulukuta okwetooloola ensi ya Kavira, awali zaabu; |
|
| 12 |
|
| ne zaabu y’ensi eyo nnungi; mulimu bideriamu n’amayinja onuku. |
|
| 13 |
|
| Omugga ogwokubiri ye Gikoni, gwe gukulukuta okwetooloola ensi ya Kuusi. |
|
| 14 |
|
| N’erinnya ly’ogwokusatu ye Tigiriisi ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati. |
|
| 15 |
|
| Mukama Katonda n’ateeka omuntu mu nnimiro Adeni agirimenga era agikuumenga. |
|
| 16 |
|
| Mukama Katonda n’alagira omuntu nti, “Emiti gyonna egy’omu nnimiro olyangako, |
|
| 17 |
|
| naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi ogwo togulyangako, kubanga lw’oligulyako tolirema kufa.” |
|
| 18 |
|
| Mukama Katonda n’ayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.” |
|
| 19 |
|
| Naye olwo Mukama Katonda yali amaze okukola ensolo zonna ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga. N’abireeta eri omuntu abituume amannya. Buli kiramu omuntu nga bwe yakiyita, lye lyabeera erinnya lyakyo. |
|
| 20 |
|
| Bw’atyo omuntu n’atuuma buli nsolo ey’awaka, n’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko amannya. Adamu yali tannaba kufunirwa mubeezi. |
|
| 21 |
|
| Mukama Katonda n’aleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzaawo ennyama. |
|
| 22 |
|
| Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera. |
|
| 23 |
|
| Omusajja n’agamba nti, “Lino lye ggumba ery’omu magumba gange, ye nnyama ey’omu nnyama yange, anaayitibwanga mukazi; kubanga aggyibbwa mu musajja.” |
|
| 24 |
|
| Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu. |
|
| 25 |
|
| Omusajja n’omukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi. |
|
|
|
|