|
| 1 |
|
| Mukama n'atuukiriza byonna bye yasuubiza Saala. |
|
| 2 |
|
| Saala n'aba olubuto, n'azaalira Ibulayimu omwana ow'obulenzi; Ibulayimu ng'akaddiye, mu biro ebyo ebyateekebwawo Katonda bye yamugambako. |
|
| 3 |
|
| Ibulayimu n'atuuma omwana oyo erinnya Isaaka. |
|
| 4 |
|
| Ibulayimu n'akomola omwana we Isaaka, ng'awezezza ennaku munaana, nga Katonda bwe yamulagira. |
|
| 5 |
|
| Ibulayimu yali awezezza emyaka kikumi (100), omwana we Isaaka bwe yamuzaalirwa. |
|
| 6 |
|
| Saala n'ayogera nti, “Katonda ansesezza; buli anaawuliranga anaasekeranga wamu nange.” |
|
| 7 |
|
| N'ayogera nti, “Ani oyo eyandigambye Ibulayimu nti Saala aliyonsa abaana be? Naye laba kati, muzaalidde omwana ow'obulenzi ng'ankaddiye.” |
|
| 8 |
|
| Omwana n'akula, n'ava ku mabeere; Ibulayimu n'afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaviirako ku mabeere. |
|
| 9 |
|
| Saala n'alaba omwana wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu, ng'azannya ne Isaaka. |
|
| 10 |
|
| Kyeyava agamba Ibulayimu nti, “Goba omuzaana ono n'omwana we kubanga omwana w'omuzaana ono tajja kubeera musika wamu n'omwana wange, Isaaka.” |
|
| 11 |
|
| N'ekigambo ekyo ne kiba kizibu nnyo eri Ibulayimu olw'omwana we Isimaeri. |
|
| 12 |
|
| Katonda n'agamba Ibulayimu nti, “Kireme okuba ekizibu gy'oli, olw'omulenzi, n'olw'omuzaana wo. Mu byonna Saala by'anaakubuuliranga, owuliranga eddoboozi lye; kubanga mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaamanyirwanga. |
|
| 13 |
|
| Era n'omwana w'omuzaana ndimufuula eggwanga, kubanga naye zzadde lyo.” |
|
| 14 |
|
| Ibulayimu n'agolokoka enkya ku makya, n'addira emmere n'ensawo ey'eddiba ey'amazzi, n'abiwa Agali, n'abissa ku kibegabega kye, n'omwana, n'amugamba agende. Awo Agali n'agenda, ng'abungeetera mu ddungu ery'e Beeruseba. |
|
| 15 |
|
| Amazzi ag'omu ddiba ne gaggwaamu, n'azazika omwana wansi w'ekisaka ekimu. |
|
| 16 |
|
| N'agenda, walako ebbanga ng'akasaale we kagwa; n'atuula wansi ng'amutunuulira, kubanga yayogera nti, “Saagala kulaba omwana wange ng'afa.” N'atuula wansi ng'amutunuulira, n'akaaba n'eddoboozi eddene. |
|
| 17 |
|
| Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi; era malayika wa Katonda n'ayita Agali ng'ayima mu ggulu, n'amugamba nti, “Obadde ki, Agali? Totya; kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi w'ali. |
|
| 18 |
|
| Situka ositule omulenzi, omukwate mu mikono gyo; kubanga ndimufuula eggwanga eddene.” |
|
| 19 |
|
| Katonda n'azibula amaaso ga Agali, n'alaba oluzzi, n'agenda, n'ajjuza eddiba amazzi, n'anywesa omulenzi. |
|
| 20 |
|
| Katonda n'aba wamu n'omulenzi, n'akula; n'atuulanga mu ddungu, n'afuuka omulasi w'obusaale. |
|
| 21 |
|
| N'atuulanga mu ddungu ery'e Palani; ne nnyina n'amuwasiza omukazi mu nsi y'e Misiri. |
|
| 22 |
|
| Awo mu biro ebyo Abimereki ne Fikoli omukulu w'eggye ne bagamba Ibulayimu nti, “Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola; |
|
| 23 |
|
| kale nno, ndayirira wano mu maaso ga Katonda nga tonkuusekuusenga nze, newakubadde omwana wange, newakubadde omwana w'omwana wange; nga nze bwe nkukoledde eby'ekisa, naawe on'onkoleranga bw'otyo nze, n'ensi gy'olimu.” |
|
| 24 |
|
| Ibulayimu n'ayogera nti, “Nnaalayira.” |
|
| 25 |
|
| Ibulayimu neyeemulugunyiza Abimereki olw'oluzzi abaddu ba Abimereki lwe baamuggyako olw'amaanyi. |
|
| 26 |
|
| Abimereki n'ayogera nti, “Simumanyi eyakola bw'atyo; so naawe tombuulirangako, era siwulirangako okuggyako leero.” |
|
| 27 |
|
| Ibulayimu n'awa Abimereki endiga n'ente, ne balagaana endagaano bombi. |
|
| 28 |
|
| Ibulayimu n'ayawulako endiga enduusi musanvu ez'omu kisibo n'aziteeka zokka. |
|
| 29 |
|
| Abimereki n'abuuza Ibulayimu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu z'oyawuddeko awamu zokka, amakulu gakyo ki?” |
|
| 30 |
|
| N'addamu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu zitwale, zibeere obujulirwa obukakasa nti nze n'asima oluzzi olwo.” |
|
| 31 |
|
| Kyeyava ayita ekifo ekyo Beeruseba; kubanga eyo gye baalayirira bombi. |
|
| 32 |
|
| Bwe batyo ne balagaanira endagaano mu Beeruseba; Abimereki n'agolokoka ne Fikoli omukulu w'eggye lye, ne baddayo mu nsi ey'Abafirisuuti. |
|
| 33 |
|
| Ibulayimu n'asimba omuti omumyulira mu Beeruseba, n'asinziza eyo erinnya lya Mukama, Katonda ataggwaawo. |
|
| 34 |
|
| Ibulayimu n'amala ennaku nnyingi mu nsi ey'Abafirisuuti. |
|
|
|
|