|
| 1 |
|
| Awo Ibulayimu n'awasa omukazi omulala, erinnya lye Ketula. |
|
| 2 |
|
| N'amuzaalira Zimulaani, Yokusaani, Medani, Midiyaani, Isubaki, ne Suwa. |
|
| 3 |
|
| Yokusaani n'azaala Seeba, ne Dedani. N'abaana ba Dedani abasajja baali Asulimu, Letusimu, ne Lewumimu. |
|
| 4 |
|
| N'abaana ba Midiyaani abasajja baali: Efa, Eferi, Kanoki, Abida, ne Eruda. Abo bonna bazzukulu ba Ketula. |
|
| 5 |
|
| Ibulayimu n'awa Isaaka byonna bye yalina. |
|
| 6 |
|
| Naye abaana be abalenzi abalala n'abawa ebirabo. N'abasindika okuva awali omwana we Isaaka, bwe yali ng'akyali mulamu, bagende mu nsi ey'obuvanjuba bwa Kanani. |
|
| 7 |
|
| Ibulayimu yawangaala emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano (175). |
|
| 8 |
|
| Ibulayimu n'afa nga mukadde nnyo, n'aziikibwa ku butaka bwe. |
|
| 9 |
|
| Isaaka ne Isimaeri batabani be ne bamuziika mu mpuku eri e Makupeera, mu lusuku lwa Efulooni, omwana wa Zokali Omukiiti, olw'olekera Mamule; |
|
| 10 |
|
| olusuku olwo abaana ba Keesi lwe baaguza Ibulayimu okuziikamu Saala mukazi we; era naye mwe baamuziika. |
|
| 11 |
|
| Awo olwatuuka Ibulayimu ng'amaze okufa Katonda n'awa Isaaka omwana we omukisa; Isaaka n'atuulanga e Beerirakairoi. |
|
| 12 |
|
| Abaana ba Isimaeri, omwana wa Ibulayimu, Agali Omumisiri, omuzaana wa Saala gwe yazaalira Ibulayimu be bano nga bwe baddiŋŋanwako: |
|
| 13 |
|
| omubereberye we ye Nebayoosi, ne kuddako Kedali, Adubeeri, Mibusamu, |
|
| 14 |
|
| Misuma, Duma, Masa; |
|
| 15 |
|
| Kadadi, Teema, Yetuli, Nafisi, ne Kedema. |
|
| 16 |
|
| Abo be baana ba Isimaeri, bajjajja b'ebika ekkumi n'ebibiri, era amannya gaabwe gaatuumibwa ebyalo byabwe, n'ebifo mwe baasimba eweema zaabwe. |
|
| 17 |
|
| Isimaeri n'afa ng'awangadde emyaka kikumi mu asatu mu musanvu (137); n'aziikibwa awali abantu be. |
|
| 18 |
|
| Abaana ba Isimaeri ne batuula okuva e Kavira okutuuka e Ssuuli, okwolekera Misiri, ng'ogenda e Bwasuli; nga beesudde ku baana ba Ibulayimu abalala. |
|
| 19 |
|
| Bano be baana ba Isaaka, omwana wa Ibulayimu. |
|
| 20 |
|
| Isaaka yali awezezza emyaka ana (40) bwe yawasa Lebbeeka, omwana wa Bessweri Omusuuli ow'e Padanalaamu. Labbaani ye yali mwannyina Lebbeeka. |
|
| 21 |
|
| Isaaka ne yeegayiririra Mukama mukazi we, kubanga yali mugumba: Mukama n'awulira okwegayirira kwe, ne Lebbeeka mukazi we n'aba olubuto. |
|
| 22 |
|
| Abaana ne bawakanira mu nda ye; n'ayogera nti, “Bwe kiri bwe kityo kyenva mbeera omulamu kiki?” N'agenda okubuuza Mukama. |
|
| 23 |
|
| Mukama n'amugamba nti, “Amawanga abiri gali mu lubuto lwo, N'ebika ebibiri biryawukana n'okuva mu byenda byo: N'eggwanga erimu linaasinganga eggwanga eddala amaanyi; N'omukulu anaaweerezanga omuto.” |
|
| 24 |
|
| Awo ennaku ze bwe zaatuukirira okuzaala, laba ne baba abalongo mu lubuto lwe. |
|
| 25 |
|
| N'omubereberye n'avaamu nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ekyambalo eky'ebyoya; ne bamutuuma erinnya lye Esawu. |
|
| 26 |
|
| Muganda we n'amuddirira n'avaamu, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; n'erinnya lye ne bamutuuma Yakobo; era Isaaka yali awezezza emyaka nkaaga (60), mukazi we bwe yabazaala. |
|
| 27 |
|
| Abalenzi ne bakula, Esawu n'abanga omuyizzi ow'amagezi, omusajja ow'omu nsiko; ne Yakobo yali musajja muteefu, eyatuulanga mu weema. |
|
| 28 |
|
| Era Isaaka n'ayagala Esawu, kubanga yalyanga ku muyiggo gwe; ne Lebbeeka n'ayagala Yakobo. |
|
| 29 |
|
| Yakobo n'afumba omugoyo; Esawu n'ayingira ng'avudde mu nsiko, ng'akooye nga talina maanyi: |
|
| 30 |
|
| Esawu n'agamba Yakobo nti, “Ndiisa, nkwegayirira, omugoyo ogwo omumyufu; kubanga sirina maanyi.” Kyebaava bamuyita Edomu. |
|
| 31 |
|
| Yakobo n'ayogera nti, “Nguza leero eby'obukulu bwo.” |
|
| 32 |
|
| Esawu n'ayogera nti, “Laba, mbulako katono okufa; n'eby'obukulu biringasa bitya?” |
|
| 33 |
|
| Yakobo n'amugamba nti, “Ndayirira leero,” n'amulayirira, Esawu n'aguza Yakobo eby'obukulu bwe. |
|
| 34 |
|
| Yakobo n'awa Esawu emmere n'omugoyo gw'ebijanjaalo; n'alya, n'anywa, n'agolokoka, n'agenda. Bw'atyo Esawu n'anyooma eby'obukulu bwe. |
|
|
|
|