1
Omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu ttale, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gubuuza omukazi nti: “Ddala Katonda yagamba nti: ‘Temulyanga ku miti gyonna egy'omu nnimiro?’ ”
2
Omukazi n'agamba omusota nti: “Tuyinza okulya ku bibala by'emiti egy'omu nnimiro,
3
okuggyako ebibala by'omuti oguli wakati mu nnimiro. Katonda yagamba nti: ‘Temulyanga ku muti ogwo, wadde okugukwatako. Bwe mulikikola, mugenda kufa.’ ”
4
Omusota ne gugamba omukazi nti: “Nedda, temugenda kufa.
5
Katonda yayogera bw'atyo, kubanga amanyi nga bwe muligulyako, amaaso gammwe gagenda kuzibuka, mube nga Katonda, mumanye ekirungi n'ekibi.”
6
Omukazi n'alaba ng'ebibala by'omuti birungi okulya, era nga nagwo gwennyini gusanyusa amaaso. N'agwegomba, kubanga guleeta amagezi. Kyeyava anoga ku bibala byagwo, n'alya. N'awaako ne bba, naye n'alya.
7
Olwo amaaso gaabwe bombi ne gazibuka, ne bategeera nti bali bwereere. Ne batunga amakoola g'emiti, ne beekolera ebyokwambala.
8
Olwegguloggulo, ne bawulira Mukama Katonda ng'atambula mu nnimiro, ne beekweka mu miti egy'omu nnimiro, aleme okubalaba.
9
Mukama Katonda n'akoowoola omusajja nti: “Oli ludda wa?”
10
Omusajja n'addamu nti: “Nkuwulidde mu nnimiro, ne ntya, ne nneekweka, kubanga ndi bwereere.”
11
Katonda n'amubuuza nti: “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti, gwe nakugaana okulyako?”
12
Omusajja n'addamu nti: “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange, ye ampadde ku kibala ne ndya.”
13
Mukama Katonda n'abuuza omukazi nti: “Lwaki okoze kino?” Omukazi n'addamu nti: “Omusota gwe gwannimbyerimbye, ne ndya.”
14
Awo Mukama Katonda n'agamba omusota nti: “Nga bw'okoze kino, okolimiddwa mu nsolo zonna enfuge n'ez'omu ttale. Oneekululiranga ku lubuto lwo, era onoolyanga nfuufu obulamu bwo bwonna.
15
Nnaakukyawaganyanga n'omukazi, era nnaakyawaganyanga ezzadde lye n'eriryo. Ezzadde ly'omukazi lirikubetenta omutwe, ate ggwe oliribojja ekisinziiro.”
16
N'agamba omukazi nti: “Nnaakwongerangako obulumi ng'oli lubuto. Mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana. Kyokka newaakubadde nga kiri bwe kityo, oneegombanga balo, era ye anaakufuganga.”
17
N'agamba omusajja nti: “Nga bwe wawulirizza mukazi wo, n'olya ekibala kye nakugamba nti tokiryangako, ensi ekolimiddwa olw'okubeera ggwe. Onootegananga okufuna ebyokulya obulamu bwo bwonna.
18
Ensi eneekumerezanga omuddo n'amaggwa, era onoolyanga omuddo ogw'omu ttale.
19
Onookolanga nnyo n'otuuyana okufuna emmere gy'olya, okutuusa lw'olidda mu ttaka mwe waggyibwa, kubanga ggwe oli nfuufu, era mu nfuufu mw'olidda.”
20
Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya Haawa, kubanga ye nnyina w'abalamu bonna.
21
Mukama Katonda n'akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo eby'amaliba, n'abambaza.
22
Mukama Katonda n'agamba nti: “Omuntu afuuse ng'omu ku ffe, ng'amanyi ekirungi n'ekibi. Kaakano tajja kulekebwa kunoga kibala ku muti ogw'obulamu na kukirya okuwangaala emirembe n'emirembe.”
23
Mukama Katonda kyeyava agoba omuntu mu nnimiro y'e Edeni, alimenga ettaka mwe yaggyibwa.
24
Ebuvanjuba w'ennimiro y'e Edeni, Katonda n'ateekayo bakerubi n'ekitala ekimyansa, ekikyukira ku njuyi zonna, okukuumanga ekkubo eriraga ku muti gw'obulamu.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.