|
| 1 |
|
| Awo Yakobo n’akwata ekkubo lye, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. |
|
| 2 |
|
| Yakobo bwe yabalaba n’agamba nti, “Lino ggye lya Katonda.” Ekifo ekyo n’alyoka akituuma Makanayimu. |
|
| 3 |
|
| Awo Yakobo n’atuma ababaka eri Esawu muganda we, mu kitundu kya Seyiri mu nsi ya Edomu. |
|
| 4 |
|
| N’abagamba nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti, ‘Omuddu wo Yakobo abadde ne Labbaani okutuusa kaakano, |
|
| 5 |
|
| alina ente, n’endogoyi, n’endiga era n’embuzi, abaweereza abakazi era n’abasajja. Kaakano aweerezza mukama we Esawu obubaka buno afune okusaasirwa mu maaso ge.’ ” |
|
| 6 |
|
| Ababaka bwe baakomawo eri Yakobo ne bamugamba nti, “Twatuuka ewa muganda wo Esawu era ajja okukusisinkana ng’alina abasajja ebikumi bina.” |
|
| 7 |
|
| Olwo Yakobo n’atandika okutiira ddala, n’asoberwa. N’ayawulamu abantu be yali nabo, n’ayawulamu n’endiga, ebisibo bye yalina ne mu ŋŋamira, ebibinja bibiri, |
|
| 8 |
|
| ng’alowooza nti, “Esawu bw’anaatuuka ku kibinja ekisooka n’akizikiriza, kale ekibinja ekisigaddewo kinadduka.” |
|
| 9 |
|
| Awo Yakobo n’agamba nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, Ayi Mukama eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi yammwe, mu bantu bo, nange nnaakugaggawazanga,’ |
|
| 10 |
|
| sisaanira wadde akatundu akatono ak’okwagala kwo okutaggwaawo, wadde obwesigwa bwonna bw’olaze omuddu wo. Kubanga nasomoka omugga guno Yoludaani nga nnina muggobuggo; naye kaakano nfuuse ebibinja bibiri. |
|
| 11 |
|
| Nkusaba omponye mu mukono gwa muganda wange, Esawu, kubanga mmutya, talwa kujja n’atutta ffenna awamu n’abakazi n’abaana. |
|
| 12 |
|
| Naye waŋŋamba nti, ‘Nnaakugaggawazanga, era abalikuvaamu baliba ng’omusenyu gw’ennyanja, ogutabalika obungi bwabwe.’ ” |
|
| 13 |
|
| N’alyoka asula eyo ekiro ekyo, n’aggya ekirabo kya muganda we Esawu ku ebyo bye yalina: |
|
| 14 |
|
| embuzi enkazi ebikumi bibiri, embuzi ennume amakumi abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, endiga ennume amakumi abiri, |
|
| 15 |
|
| eŋŋamira enkazi amakumi asatu n’obwana bwazo, ente enkazi amakumi ana n’ennume kkumi, n’endogoyi enkazi amakumi abiri, n’endogoyi ennume kkumi. |
|
| 16 |
|
| N’azikwasa abaddu be, buli kisibo ng’akyawudde, n’agamba abaddu be nti, “Kale munkulemberemu, mulekeewo ebbanga wakati wa buli kisibo.” |
|
| 17 |
|
| N’alagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli muntu w’ani? Ogenda wa? Na bino by’olina by’ani?’ |
|
| 18 |
|
| N’olyoka omuddamu nti, ‘Bya muddu wo Yakobo, birabo by’aweerezza mukama wange Esawu, era tali wala naffe.’ ” |
|
| 19 |
|
| Bw’atyo era n’alagira n’owokubiri n’owookusatu ne bonna abaagobereranga ebisibo nti, “Nammwe mwogere ebigambo bye bimu bwe musisinkana Esawu, |
|
| 20 |
|
| era mugambe nti, ‘Omuddu wo Yakobo tali wala naffe.’ ” Kubanga Yakobo yalowooza nti, “Nnaamuwooyawooya n’ekirabo ekinkulembedde, n’oluvannyuma nnaalaba amaaso ge, osanga tankole kabi.” |
|
| 21 |
|
| Ekirabo kyekyava kimukulemberamu, ye n’asula mu kifo we yali ekiro ekyo. |
|
| 22 |
|
| Mu kiro ekyo Yakobo n’agolokoka n’atwala bakazi be bombi, n’abaweereza be abakazi ababiri, n’abaana be ekkumi n’omu n’asomokera e Yaboki. |
|
| 23 |
|
| N’abatwala ne byonna bye yalina n’abasomosa omugga. |
|
| 24 |
|
| Ye Yakobo n’asigala yekka, omusajja n’ameggana naye okutuusa obudde okukya. |
|
| 25 |
|
| Omusajja bwe yalaba nga taasobole Yakobo, n’akoma ku kinywa ky’ekisambi kye. Yakobo n’atandika okuwenyera nga bw’ameggana n’omusajja. |
|
| 26 |
|
| Omusajja n’alyoka agamba Yakobo nti, “Ndeka ŋŋende kubanga obudde bugenda kukya.” Naye Yakobo n’ayogera nti, “Sijja kukuta nga tompadde mukisa.” |
|
| 27 |
|
| Omusajja n’amubuuza nti, “Erinnya lyo gw’ani?” N’amuddamu nti, “Yakobo.” |
|
| 28 |
|
| Awo n’amugamba nti, “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo. Wabula onooyitibwanga Isirayiri, kubanga omegganye ne Katonda, awamu n’abantu n’owangula.” |
|
| 29 |
|
| Awo ne Yakobo n’amugamba nti, “Mbuulira erinnya lyo.” Naye ye n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza erinnya lyange?” Awo n’amuwa omukisa. |
|
| 30 |
|
| Yakobo ekifo ekyo kyeyava akiyita Penieri, ng’agamba nti, “Kubanga ndabaganye ne Katonda, kyokka obulamu bwange ne busigalawo.” |
|
| 31 |
|
| Enjuba n’evaayo ne mwakako nga bw’asala Penieri, ng’awenyera olw’obuvune mu kisambi kye. |
|
| 32 |
|
| Abayisirayiri kyebava batalya kinywa ky’ekisambi na buli kati, kubanga ekyo omusajja wa Katonda kye yakomako. |
|
|
|
|