×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Olubereberye 35

1
Katonda n'agamba Yakobo nti, “Golokoka, oyambuke e Beseri, gye nnakulabikira ng'odduka mugandawo Esawu, otuule eyo onzimbire ekyoto.”
2
Yakobo n'alyoka agamba ab'omu nnyumba ye n'abo bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mwetukuze, mukyuse ebyambalo byammwe, mwambale ebitukula;
3
tusituke twambuke e Beseri; nange ndizimbira eyo Katonda ekyoto, eyannyamba, mu biseera ebizibu, era eyabanga nange mu kkubo lye natambuliramu.”
4
Ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina n'empeta ezaali ku matu gaabwe; Yakobo n'abiziika wansi w'omuti omwera, ogwali mu Sekemu.
5
Ne batambula, entiisa ennene n'ekwata ab'omu bibuga ebibeetoolodde, ne batabawondera.
6
Awo Yakobo n'abantu bonna abaali naye, ne batuuka e Luzzi, ye Beseri ekiri mu nsi ya Kanani.
7
N'azimba eyo ekyoto, ekifo ekyo n'akituuma Erubeseri, kubanga eyo Katonda gye yamulabikira bwe yali ng'adduka Esawu muganda we.
8
Debola, omulezi wa Lebbeeka n'afa, ne bamuziika emmanga wa Beseri wansi w'omwera; ne bagutuuma erinnya Alooninakusi.
9
Katonda n'alabikira nate Yakobo, bwe yava mu Padanalaamu, n'amuwa omukisa.
10
Katonda n'amugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; naye okuva kati tokyayitibwa Yakobo, naye Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo.” N'amutuuma erinnya Isiraeri.
11
Katonda n'amugamba nti, “Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; oyale era weeyongerenga; eggwanga n'ekibiina eky'amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka baliva mu ntumbwe zo;
12
n'ensi gye nnawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, n'ezzadde lyo eririddawo.”
13
Katonda n'ava awali Yakobo,
14
Yakobo n'asimba empagi ey'amayinja mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, n'agifukako ekiweebwayo eky'okunywa n'amafuta.
15
Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Beseri.
16
Awo Yakobo n'ab'omu nnyumba ye ne bava e Beseri ne batambula; baali babulako katono okutuuka mu Efulasi; ebiseera bya Laakeeri eby'okuzaala ne bituuka, n'alumwa nnyo.
17
Awo olwatuuka, bwe yali alumwa nnyo, omuzaalisa n'amugamba nti, “Totya; kubanga kaakano onoozaala omwana ow'obulenzi omulala.”
18
Awo olwatuuka, bwe yali anaatera okufa, n'atuuma omwana we erinnya Benoni, naye kitaawe n'amutuuma Benyamini.
19
Laakeeri n'afa, ne bamuziika ku mabbali g'ekkubo erigenda e Efulasi, ye Besirekemu.
20
Yakobo n'asimba empagi ku malaalo ge; eyo ye mpagi ey'amalaalo ga Laakeeri ne leero.
21
Isiraeri ne yeyongerayo mu lugendo lwe, n'asimba eweema ye ng'ayisizza omunaala gwa Ederi.
22
Awo olwatuuka, Isiraeri bwe yali ng'atudde mu nsi eyo, Lewubeeni n'agenda n'asula ne Bira omuzaana wa kitaawe; Isiraeri n'akimanya. Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri.
23
Abaana ba Leeya be bano: Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo, Simyoni, Leevi, Yuda, Isakaali, ne Zebbulooni.
24
Abaana ba Laakeeri: Yusufu ne Benyamini.
25
Abaana ba Bira, omuzaana wa Laakeeri: Ddaani ne Nafutaali.
26
Abaana ba Zirupa, omuzaana wa Leeya: Gaadi ne Aseri. Abo be batabani ba Yakobo, abaamuzaalirwa e Padanalaamu.
27
Yakobo n'ajja eri Isaaka kitaawe e Mamule, mu Kiriasualaba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga.
28
Isaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana (180).
29
Isaaka n'afa nga akaddiye nnyo, n'atwalibwa eri bajjajjaabe. Abaana be Esawu ne Yakobo ne bamuziika.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes