kubanga, laba, twali tusiba ebinywa mu nnimiro, era laba, ekinywa kyange ne kiyimirira, era ne kyesimba; era, laba, ebinywa bwammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa kyange.
N'akibuulira kitaawe ne baganda be; kitaawe n'amunenya, n'amugamba nti Kirooto ki kino ky'oloose? Nze ne nnyoko ne baganda bo okujja tulijja okukuvuunamira?
N'amugamba nti Genda kaakano olabe nga baganda bo gyebali balungi, era n'ekisibo nga gyekiri kirungi; okomewo ombuulire. Awo n'amutuma okuva mu kiwonvu eky'e Kebbulooni, n'atuuka e Sekemu.
Ne batuula okulya emmere: ne bayimusa amaaso gaabwe ne batunula, era, laba, ekibiina ky'Abaisimaeri abaava mu Gireyaadi nga batambula, nga balina eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'envumbo ne moli, nga babitwala mu Misiri.
Abamidiyaani, ab'obuguzi, ne bayitawo; ne bawalula Yusufu ne bamuggya mu bunnya, ne baguza Abaisimaeri Yusufu ebitundu by'effeeza amakubi abiri. Ne batwala Yusufu mu Misiri.
ne baweereza ekizibawo eky'amabala amangi, ne bakireetera kitaabwe; ne boogera nti Twalaba kino: kaakano tegeera obanga kye kizibawo eky'omwana wo nantiki si kyo.
Batabani be bonna ne bawala be bonna ne bagolokoka okumusanyusa; naye n'agaana okusanyusibwa; n'ayogera nti Kubanga ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba. Kitaawe n'amulirira amaziga.