|
| 1 |
|
| Yusufu ne bamuserengesa mu Misiri; Potifaali, omwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa, Omumisiri, n'amugula ku ba Isimaeri, abaamuserengesaayo. |
|
| 2 |
|
| Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n'aba n'omukisa; n'abeera mu nnyumba ya mukama we Omumisiri. |
|
| 3 |
|
| Mukama we n'alaba nga Mukama ali naye, era nga Mukama amuwa omukisa mu buli kye yakolanga. |
|
| 4 |
|
| Potifaali n'asiima Yusufu, n'amufuula omuweereza we ow'enjawulo, n'amuwa okulabiriranga ennyumba ye, n'okukuumanga ebibye byonna. |
|
| 5 |
|
| Awo olwatuuka bwe yamala okumufuula omulabirizi w'ennyumba ye, era owa byonna bye yalina, Mukama n'alyoka agiwa omukisa ennyumba ey'Omumisiri ku bwa Yusufu; omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, eby'omu nnyumba n'eby'omu nnimiro. |
|
| 6 |
|
| Potifaali n'aleka byonna bye yalina mu mukono gwa Yusufu; n'atamanya bintu bye byonna, okuggyako emmere gye yalyanga. Yusufu yali mulungi nnyo mu ndabika, n'amaaso ge nga gasanyusa. |
|
| 7 |
|
| Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omukazi wa mukama we n'atunuulira Yusufu; n'ayogera nti, “Weebake nange.” |
|
| 8 |
|
| Naye n'agaana, n'agamba omukazi wa mukama we nti, “Laba, mukama wange tamanyi ebiri nange mu nnyumba, era yateeka byonna by'alina mu mukono gwange; |
|
| 9 |
|
| tewali ansinga nze obukulu mu nnyumba muno; so teyasigaza kintu obutakimpa nze, wabula ggwe, kubanga oli mukazi we; kale nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n'okusobya ku Katonda?” |
|
| 10 |
|
| Newakubadde ng'omukazi oyo yeetayiriranga Yusufu buli lunaku, naye Yusufu n'agaana okusula naye wadde okubeera naye. |
|
| 11 |
|
| Awo olwatuuka mu biro ebyo, Yusufu n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye; nga tewali basajja balala mu nnyumba. |
|
| 12 |
|
| Omukazi n'akwata Yusufu ekyambalo n'amugamba nti, “Weebake nange.” Yusufu n'aleka ekyambalo kye mu ngalo z'omukazi n'adduka n'afuluma ebweru. |
|
| 13 |
|
| Awo olwatuuka, omukazi bwe yalaba Yusufu ng'alese ekyambalo kye mu ngalo ze, naye n'adduka n'afuluma ebweru. |
|
| 14 |
|
| Omukazi n'alyoka ayita abasajja ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti, “Mulabe, baze yaleeta muno Omwebbulaniya okutujooga; ayingidde gye ndi okunsobyako, ne ndeekaana nnyo. |
|
| 15 |
|
| Awo olutuuse, bw'awulidde nga ndeekaana nnyo n'aleka ekyambalo kye mu ngalo zange n'adduka n'afuluma ebweru.” |
|
| 16 |
|
| Omukazi n'atereka ekyambalo kya Yusufu okutuusa mukama we lwe yakomawo eka. |
|
| 17 |
|
| N'amubuulira ebigambo bye bimu nti, “Omuddu Omwebbulaniya gwe watuleetera, yayingira gye ndi n'agezaako okunsobyako. |
|
| 18 |
|
| Awo olwatuuka, bwe nnaleekaana ennyo n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi, n'adduka n'afuluma ebweru.” |
|
| 19 |
|
| Mukama we bwe yawulira ebigambo bya mukazi we bye yamugamba Yusufu bye yakola; obusungu bwe ne bubuubuuka. |
|
| 20 |
|
| Potifaali n'atwala Yusufu mu kkomera, ekifo abasibe ba Kabaka mwe basibirwa n'abeera omwo. |
|
| 21 |
|
| Naye Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n'amukwatirwa ekisa, n'amuwa okusiimibwa mu maaso g'omukuumi w'ekkomera. |
|
| 22 |
|
| Omukuumi w'ekkomera n'akwasa Yusufu abasibe bonna okubalabiriranga, era n'amuwa obuvunaanyizibwa ku buli kintu ekikolebwa mu kkomera. |
|
| 23 |
|
| Omukuumi w'ekkomera teyatunuulira kintu ekyali wansi w'omukono gwa Yusufu, kubanga Mukama yali wamu ne Yusufu, n'ebyo bye yakola Mukama n'abiwa omukisa. |
|
|
|
|