Luganda Bible
|
| 1 |
| Adamu n'amanya Kaawa mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Kayini, n'ayogera nti Mpeereddwa omusajja eri Mukama. |
| 2 |
| Era nate n'azaala muganda we Abiri. Abiri n'aba musumba wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi wa ttaka. |
| 3 |
| Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n'alyoka aleeta ebibala by'ettaka okubiwaayo eri Katonda. |
| 4 |
| Abiri naye n'aleeta ku baana b'endiga ze ababereberye n'amasavu gaazo. Mukama n'akkiriza Abiri ne ky'awaddeyo. |
| 5 |
| Naye Kayini ne ky'awaddeyo teyamukkiriza. Kayini n'asunguwala nnyo, amaaso ge ne goonooneka. |
| 6 |
| Mukama n'agamba Kayini, nti Kiki ekikusunguwaza? era kiki ekikwonoonesa amaaso go? |
| 7 |
| Bw'onookolanga obulungi, tokkirizibwenga? Bw'otokola bulungi, ekibi kituula ku luggi: n'okwegomba kwe kunaabanga eri ggwe, naawe onoomufuganga. |
| 8 |
| Kayini n'ayogera ne Abiri muganda we. Awo bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini n'alyoka agolokokera ku Abiri muganda we n'amutta. |
| 9 |
| Mukama n'agamba Kayini nti, Aluwa Abiri muganda wo? N'ayogera nti Simanyi: nze mukuumi wa muganda wange? |
| 10 |
| N'ayogera nti Okoze ki? Eddoboozi ly'omusaayi gwa muganda wo linkaabirira mu nsi. |
| 11 |
| Kale kaakano okolimiddwa mu nsi, eyasamizza akamwa kaayo okuweebwa omusaayi gwa muganda wo mu mukono gwo; |
| 12 |
| bw'onoolimanga ensi, okuva kaakano teekuwenga maanyi gaayo; mu nsi onoobanga mmomboze era omutambuze. |
| 13 |
| Kayini n'agamba Mukama nti Okubonerezebwa kwange, tekuyinzika kugumiikirizibwa. |
| 14 |
| Laba, ongobye leero mu maaso g'ensi; era mu maaso go mwe nneekwekanga; era nnaabanga mmomboze era omutambuze mu nsi; awo olulituuka buli alindaba, alinzita. |
| 15 |
| Mukama n'amugamba nti Buli alitta Kayini kyaliva awalanwa eggwanga emirundi omusanvu. Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero buli amulaba alemenga okumutta. |
| 16 |
| Kayini n'ava mu maaso ga Mukama, n'atuula mu nsi ya Enodi mu maaso ga Adeni. |
| 17 |
| Kayini n'amanya mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Enoka: n'azimba ekibuga, n'akituuma Enoka ng'erinnya ly'omwana we. |
| 18 |
| Ne Enoka n'azaala Iradi: Iradi n'azaala Mekuyaeri: Mekuyaeri n'azaala Mesusaeri: |
| 19 |
| Lameka n'awasa abakazi babiri; ow'olubereberye erinnya lye Ada, n'ow'okubiri erinnya lye Zira. |
| 20 |
| Ada n'azaala Yabali: oyo ye kitaabwe w'abo abatuula mu weema nga balunda. |
| 21 |
| N'erinnya lya muganda we Yubali; oyo ye kitaabwe w'abo abakuba ennanga n'omulere. |
| 22 |
| Nate Zira n'azaala Tubalukayini, omuweesi wa buli ekisaala eky'ekikomo n'eky'ekyuma: ne mwannyina Tubalukayini ye Naama. |
| 23 |
| Lameka n'agamba bakazi be nti Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange: Mmwe abakazi ba Lameka, muwulire ekigambo kyange: Kubanga natta omusajja kubanga yanfumita nze, Era omuvubuka kubanga yambetenta nze: |
| 24 |
| Obanga Kayini aliwalanirwa eggwanga emirundi musanvu, Lameka aliwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu. |
| 25 |
| Adamu n'amanya nate mukazi we; n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Seezi: Kubanga Katonda yandagiririra ezzadde eddala okudda mu kifo kya Abiri; kubanga Kayini yamutta. |
| 26 |
| Seezi naye n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Enosi: mu biro ebyo mwe baasookera okusabanga erinnya lya Mukama. |
|
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/genesis/004.mp3
50
4