|
| 1 |
|
| Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, “ Mukama annyambye nzadde omuntu.” |
|
| 2 |
|
| Oluvannyuma n’azaala muganda we Aberi. Aberi n’aba mulunzi, ye Kayini n’abeera mulimi. |
|
| 3 |
|
| Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Mukama. |
|
| 4 |
|
| Aberi naye n’aleeta ku baana b’endiga ze ababereberye n’amasavu gaazo. Mukama n’asiima Aberi n’ekiweebwayo kye. |
|
| 5 |
|
| Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini n’asunguwala nnyo, n’endabika y’amaaso ge n’ewaanyisibwa. |
|
| 6 |
|
| Mukama n’abuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa? |
|
| 7 |
|
| Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.” |
|
| 8 |
|
| Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta. |
|
| 9 |
|
| Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?” N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?” |
|
| 10 |
|
| Mukama n’amugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira. |
|
| 11 |
|
| Ne kaakano okolimiddwa, era ettaka lyasamye okumira omusaayi gwa muganda wo gwe wasse. |
|
| 12 |
|
| Bw’onoolimanga ettaka teriikuwenga bibala byalyo; onoobanga momboze ku nsi.” |
|
| 13 |
|
| Kayini n’agamba Mukama nti, “Ekibonerezo kyange kinzitooweredde sikisobola. |
|
| 14 |
|
| Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.” |
|
| 15 |
|
| Awo Mukama n’amugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.” |
|
| 16 |
|
| Kayini n’alyoka ava mu maaso ga Mukama, n’abeera mu nsi ya Enodi ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Adeni. |
|
| 17 |
|
| Kayini n’amanya mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Enoka. Kayini n’azimba ekibuga n’akituuma erinnya lyerimu erya mutabani we Enoka. |
|
| 18 |
|
| Enoka n’azaalirwa Iradi ne Iradi n’azaala Mekujeeri, ne Mekujeeri n’azaala Mesuseera, ne Mesuseera n’azaala Lameka. |
|
| 19 |
|
| Lameka n’awasa abakazi babiri: omu yali Ada n’omulala nga ye Zira. |
|
| 20 |
|
| Ada n’azaala Yabali. Ono ye yali kitaawe w’abo ababeera mu weema nga balunda. |
|
| 21 |
|
| Muganda we Yubali, ye yazaala abo abakuba ennanga n’okufuuwa omulere. |
|
| 22 |
|
| Zira n’azaala Tubalukayini omuweesi w’eby’ekikomo n’eby’ekyuma. Ne mwannyina wa Tubalukayini nga ye Naama. |
|
| 23 |
|
| Lameka n’agamba bakazi be nti, “Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange; mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba; nzise omusajja olw’okunfumita, nga muvubuka, olw’okunkuba. |
|
| 24 |
|
| Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu, mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.” |
|
| 25 |
|
| Awo Adamu n’amanya mukazi we, n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, “Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta.” |
|
| 26 |
|
| Seezi n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma Enosi. Mu kiseera ekyo abantu ne batandika okukoowoola erinnya lya Mukama. |
|
|
|
|