×

Luganda Bible 2003

Olubereberye 40

1
Bwe waayitawo ekiseera ng'ebyo biwedde, omusenero wa kabaka w'e Misiri, n'omufumbiro we ne banyiiza mukama waabwe kabaka.
2
Kabaka n'asunguwalira nnyo abakungu abo bombi: omukulu w'abasenero n'omukulu w'abafumbiro,
3
n'abaggalira mu kkomera, mu nnyumba y'omukulu w'abaserikale abakuumi b'olubiri, mu kifo kye kimu Yosefu mwe yasibirwa.
4
Omukulu w'abaserikale abakuuma olubiri n'alonda Yosefu okubaweereza. Ne bamalayo ekiseera nga basibe.
5
Mu kiro ekimu, eyo mu kkomera, omusenero n'omufumbiro wa kabaka w'e Misiri, buli omu n'aloota ekirooto, nga buli kirooto kya makulu maawufu.
6
Yosefu bwe yagenda gye baali enkya ku makya, n'alaba nga beeraliikiridde.
7
N'abuuza abakungu ba kabaka abo abaasibirwa awamu naye mu nnyumba ya mukama we, nti: “Kiki ekibeeraliikirizza bwe mutyo olwaleero?”
8
Ne bamuddamu nti: “Buli omu ku ffe yaloose ekirooto, naye tewannabaawo ayinza kuvvuunula makulu ga birooto ebyo.” Yosefu n'agamba nti: “Katonda si ye asobozesa abantu okuvvuunula ebirooto? Kale mumbuulire ebirooto ebyo.”
9
Awo omusenero omukulu n'abuulira Yosefu ekirooto kye, n'amugamba nti: “Mu kirooto kyange, waabaddewo omuzabbibu mu maaso gange,
10
nga guliko amatabi asatu. Olwabadde okuleeta ebikoola, ne gumulisa ebimuli, ne gubala ebirimba by'emizabbibu emyengevu.
11
Nabadde nkutte ekikopo kya kabaka mu ngalo zange, ne nzirira emizabbibu, ne ngikamulira mu kikopo kya kabaka, ne nkimukwasa mu ngalo ze.”
12
Yosefu n'amugamba nti: “Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu, ze nnaku ssatu.
13
Mu nnaku ssatu kabaka ajja kukuddiza obukulu bwo, akuzzeeyo mu bwami bwo olyoke omukwasenga ekikopo mu ngalo ze, nga bwe wakolanga edda, bwe wali omusenero we.
14
Naye byonna bwe birikugendera obulungi onjijukiranga, nkwegayiridde. Nkwatirwa ekisa onjogereko eri kabaka, onzigye mu kkomera muno,
15
kubanga ddala nanyagibwa mu nsi y'Abebureeyi, era ne kuno sikolanga kintu na kimu ekyandibanteesezza mu kkomera.”
16
Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng'amakulu g'ekirooto ekyo malungi, n'agamba Yosefu nti: “Nange naloose ekirooto. Nabadde neetisse ku mutwe gwange ebibbo bisatu ebirimu emigaati.
17
Mu kibbo ekya waggulu mwabaddemu emigaati egya buli ngeri, nga gya kabaka. Ennyonyi ne zigiriira mu kibbo ku mutwe gwange.”
18
Yosefu n'addamu nti: “Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu ze nnaku ssatu,
19
kabaka ajja kukuggyako obukulu bwo, akusibemu omuguwa mu bulago, akuwanike ku muti, ofe, era ennyonyi zijja kulya omulambo gwo.”
20
Ku lunaku olwokusatu, olwali olw'amazaalibwa ga kabaka, kabaka n'agabula abaweereza be bonna embaga. Omusenero omukulu n'omufumbiro omukulu n'abaddiza obukulu bwabwe mu maaso g'abaweereza be.
21
N'akomyawo omusenero omukulu mu busenero bwe, omusenero oyo n'akwasa kabaka ekikopo mu ngalo ze.
22
Naye kabaka n'awanika ku muti omufumbiro omukulu, nga Yosefu bwe yabavvuunulira ebirooto.
23
Kyokka omusenero omukulu n'atalowooza ku Yosefu, n'amwerabirira ddala.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes