1
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omusenero wa kabaka w'e Misiri n'omufumbiro we ne banyiiza mukama waabwe, kabaka w'e Misiri.
2
Falaawo n'asunguwalira abaami be bombi, omukulu w'abasenero, n'omukulu w'abafumbiro.
3
N'abasibira mu nnyumba ey'omukulu w'abambowa, mu kkomera, mu kifo Yusufu mwe yasibirwa.
4
Omukulu w'abambowa n'abakwasa Yusufu, okubaweereza; ne bamalayo ekiseera kiwanvu nga basibiddwa.
5
Mu kiro ekimu, nga bali eyo mu kkomera, omusenero n'omufumbiro wa kabaka w'Emisiri, buli omu n'aloota ekirooto kye.
6
Yusufu n'ajja gye baali ku makya, n'abasanga nga banakuwadde.
7
N'abuuza abaami ba Falaawo abaasibirwa awamu naye mu nnyumba ya mukama we nti, “Kiki ekibanakuwazizza bwe kityo leero.”
8
Ne bamugamba nti, “Tuloose ekirooto, so tewali ayinza okututegeeza amakulu gaakyo.” Yusufu n'abagamba nti, “Okutegeeza amakulu si kwa Katonda? Mukimbuulire, mbeegayiridde.”
9
Omusenero omukulu n'abuulira Yusufu ekirooto kye, n'amugamba nti, “Mu kirooto kyange, laba, omuzabbibu gubadde mu maaso gange;
10
ne ku muzabbibu kubaddeko amatabi asatu; ne guba ng'ogwanya, ne gusansula ebimuli; n'ebirimba byagwo ne bibala ezabbibu ennyengevu;
11
n'ekikompe kya Falaawo kibadde mu mukono gwange; ne nzirira ezabbibu, ne nzikamulira mu kikompe kya Falaawo, ne mpaayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo.”
12
Yusufu n'amugamba nti, “Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu ze nnaku essatu.
13
Mu nnaku ssatu, Falaawo ajja kukusumulula okuva mu kkomera akuddize obwami bwo; era onoowangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo, nga bwe wakolanga edda ng'okyali omusenero we.
14
Naye onzijjukiranga nze bw'oliraba ebirungi, ondage nze ekisa, nkwegayiridde, onjogerangako eri Falaawo, onzigye mu kkomera lino,
15
kubanga mazima nnanyagibwa mu nsi ey'Abaebbulaniya; era ne kuno sikolanga kibi ekyandibanteesezza mu kkomera.”
16
Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng'amakulu malungi, n'agamba Yusufu nti, “Nange nnaloose ekirooto, nga netisse ebibbo bisatu ku mutwe ebirimu emigaati,
17
ne mu kibbo ekya waggulu mwabaddemu emigaati gya Falaawo egy'ebika eby'enjawulo; ennyonyi ne zigiriira mu kibbo ku mutwe gwange.”
18
Yusufu n'addamu n'ayogera nti, “Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu ze nnaku essatu;
19
Mu nnaku ssatu, Falaawo ajja kukusumulula okuva mu kkomera akuwanike ku muti, n'ennyonyi zirirya omulambo gwo.”
20
Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, lwe lunaku Falaawo lwe yazaalibwako, n'afumbira abaddu be bonna embaga; n'asumulula omusenero omukulu n'omufumbiro omukulu okuva mu kkomera.
21
N'akomyawo nate omusenero omukulu mu busenero bwe; n'awangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo;
22
naye n'awanika omufumbiro omukulu, nga Yusufu bwe yabategeeza amakulu g'ebirooto byabwe.
23
Naye omusenero omukulu n'atajjukira Yusufu, naye n'amwerabira.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.