Kitaabwe Isiraeri n'abagamba nti Oba nga kaakano kiri bwe kityo, mukole bwe muti; mutwale ku bibala eby'omu nsi ebisinga obulungi mu bintu byammwe, mutwalire omusajja ekirabo, envumbo si nnyingi, n'omubisi gw'enjuki, omugavu n'obubaane, ebinywebwa n'endoozi:
era mutwale effeeza ebigero bibiri mu ngalo zammwe; n'effeeza eyakomezebwawo mu bumwa bw'ensawo zammwe gitwale nate mu ngalo zammwe; mpozzi baagizza nga tebamanyiridde:
Abasajja ne batwala ekirabo ekyo, ne batwala effeeza ebigero bibiri mu ngalo zaabwe, ne Benyamini; ne bagolokoka, ne baserengeta mu Misiri, ne bayimirira mu maaso ga Yusufu.
Abasajja ne batya, kubanga babaleese mu nnyumba ya Yusufu; ne boogera nti Olw'effeeza eyakomezebwawo mu nsawo zaffe olubereberye kyebavudde batuleeta muno; atulabireko ensonga, atuwamatukireko, atunyage okuba abaddu, n'endogoyi zaffe.
awo olwatuuka, bwe twatuuka mu kifo ekyokusulamu, ne tusumulula ensawo zaffe, era, laba, effeeza ya buli muntu yali mu kamwa k'ensawo ye, effeeza yaffe ekigero kyayo kituufu: era tugikomezzaawo mu ngalo zaffe.
N'ayogera nti Emirembe gibe gye muli, temutya: Katonda wammwe, era Katonda wa kitammwe, ye yabawa obugagga mu nsawo zammwe: nnaweebwa effeeza yammwe. N'abafulumiza Simyoni.
N'ayimusa amaaso ge n'alaba Benyamini muganda we, omwana wa nnyina, n'ayogera nti Oyo ye mwana wa bommwe, gwe mwaŋŋambako? N'ayogera nti Katonda akulage ekisa, mwana wange.