BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Yozefu yali takyasobola kwefuga mu maaso g'abaweereza be bonna, n'akangula eddoboozi nti: “Buli omu afulume.” Bwe yeeyanjulira baganda be, tewaaliwo mulala yenna. |
| 2 |
| Naye bwe yakaaba n'akuba omulanga, Abamisiri bonna ne bamuwulira, n'amawulire ne gatuuka mu lubiri lwa Faraawo. |
| 3 |
| Yozefu n'agamba baganda be nti: “Nze Yozefu. Kitange akyaliyo mulamu?” Naye baganda be ne batasobola kumwanukula kubanga baali basobeddwa w'ali. |
| 4 |
| Ye n'abayita nti: “Musembere we ndi.” Ne basembera. N'agamba nti: “Nze Yozefu, muganda wammwe gwe mwatunda mu Misiri. |
| 5 |
| Muleke kunakuwala, temunyiiga okulaba nga mwantunda eno. Katonda yabansoosa eno mu Misiri mponye obulamu bwammwe. |
| 6 |
| Gino emyaka ebiri bukya njala egwa mu nsi; ate wakyaliyo emyaka etaano nga tewali kulima wadde okukungula. |
| 7 |
| Katonda yabansoosa eno abateerewo ab'okusigalawo mu nsi, awonye obulamu bwammwe mu ngeri ey'ekitalo. |
| 8 |
| Awo nno si mmwe mwansindika eno, wabula Katonda. Anfudde kitaawe wa Faraawo, mukama w'amaka ge gonna, era omufuzi w'ensi yonna ey'e Misiri. |
| 9 |
| “Mwanguweeko mudde eri kitange, mumugambe nti: ‘Mutabani wo Yozefu agambye nti: “Katonda yanfuula mukama wa Misiri yonna. Tolwa, serengeta ojje eno gye ndi. |
| 10 |
| Ojja kusenga mu nsi Goseni, okumpi nange, ggwe n'abaana bo ne bazzukulu bo, endiga zo n'ente zo, n'eby'obugagga bwo byonna. |
| 11 |
| Nzija kukulabirira, anti wakyasigaddeyo emyaka etaano egy'enjala, sikulwa nga ggwe, ennyumba yo n'ababo mwenna mujeera.” ’ |
| 12 |
| Mulabye n'amaaso gammwe, ne muganda wange Benyamiini naye andabye, nti nzennyini, nze njogera gye muli. |
| 13 |
| Mubuulire kitange ekitiibwa kye nnina mu Misiri na byonna bye mulabye. Mwanguweeko, kitange mumuserengese mangu wano.” |
| 14 |
| Awo n'awambaatira Benyamiini muganda we, n'akaaba, ne Benyamiini naye n'amuwambaatira ng'akaaba. |
| 15 |
| Yozefu n'agenda ng'anywegera baganda be bonna nga bw'akaabira ku buli omu. Oluvannyuma lw'ekyo baganda be ne boogera naye. |
| 16 |
| Amawulire ne gatuuka mu lubiri lwa Faraawo nti: “Baganda ba Yozefu bazze.” Faraawo n'asanyuka n'abakungu be bonna. |
| 17 |
| Faraawo n'agamba Yozefu nti: “Gamba baganda bo nti: ‘Mukole kino: mutikke ensolo zammwe, muddeeyo mu nsi Kanaani, |
| 18 |
| muggyeyo kitammwe n'amaka gammwe, mukomeewo gye ndi. Nzija kubawa ekitundu ky'e Misiri ekisinga obulungi, mulyenga ku bugimu bw'ensi.’ |
| 19 |
| Era balagire nti: ‘Mukole kino: mutwale ebigaali okuva mu nsi y'e Misiri, bireete abaana bammwe n'abakazi, muleete ne kitammwe, mudde. |
| 20 |
| Temufa ku byammwe, kubanga byonna ebya Misiri ebisinga obulungi biriba byammwe.’ ” |
| 21 |
| Batabani ba Yisirayeli ne bakola batyo. Yozefu yabawa ebigaali nga Faraawo bwe yalagira, n'entanda ey'omu lugendo. |
| 22 |
| Yalagira buli omu aweebwe omuteeko gw'ebyambalo ebiggya. Benyamiini yamuwa ebitundu bya ffeeza ebikumi bisatu n'emiteeko gy'ebyambalo ebiggya bitaano. |
| 23 |
| Ne kitaawe n'amuweereza endogoyi kkumi, nga zeetisse ku buli kirungi ekisangibwa mu Misiri, n'endogoyi enkazi kkumi nga zeetisse eŋŋano, emigaati n'entanda eya kitaabwe bw'aliba ajja. |
| 24 |
| N'asiibula baganda be. Bwe baali bagenda n'abakomekkereza nti: “Temuyombera mu kkubo.” |
| 25 |
| Ne bambuka nga bava mu Misiri, ne batuuka mu nsi Kanaani ewa kitaabwe Yakobo, |
| 26 |
| ne bamubuulira nti: “Yozefu akyali mulamu; y'afuga ensi y'e Misiri yonna.” Yakobo n'azirika; yali takkiriza kye bagamba. |
| 27 |
| Naye bwe baamubuulira byonna Yozefu bye yali abagambye, era bwe yalaba ebigaali bye yaweereza okumukima, olwo omutima gwa kitaabwe Yakobo ne gudda engulu. |
| 28 |
| Yisirayeli n'agamba nti: “Ekyo kimala. Omwana wange Yozefu akyali mulamu. Nteekwa okugenda mmulabeko nga sinnafa.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/genesis/045.mp3
50
45