|
| 1 |
|
| Awo Yusufu n’atasobola kwefuga n’alemererwa okwongera okwekuuma mu maaso gaabo bonna abaaliwo; kwe kulagira nti, “Muggyeewo abantu bonna mu maaso gange.” Bwe kityo ne wataba muntu mulala yenna Yusufu bwe yali yeeraga eri baganda be. |
|
| 2 |
|
| Awo n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, n’Abamisiri ne bamuwulira era n’ennyumba yonna eya Falaawo nabo ne bamuwulira. |
|
| 3 |
|
| Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nze Yusufu, kitange akyali mulamu?” Naye baganda be ne batayinza kumuddamu, kubanga okweraliikirira kwabayinga mu maaso ge. |
|
| 4 |
|
| Awo Yusufu n’agamba baganda be nti, “Mbasaba munsemberere.” Ne basembera gy’ali. N’abagamba nti, “Nze muganda wammwe Yusufu gwe mwatunda e Misiri. |
|
| 5 |
|
| Naye kaakano temuggwaamu mwoyo, oba temwekubagiza olw’okuntunda wano, kubanga Katonda yantuma mbasookeyo nsobole okuwonya obulamu. |
|
| 6 |
|
| Kubanga enjala ebadde mu nsi okumala emyaka gino ebiri; era wakyaliyo emirala etaano egitalibaamu kulima wadde okukungula. |
|
| 7 |
|
| Era Katonda yantuma mbasookeyo mbakuumire abalisigalawo ku nsi; ndyoke mbawonyezeewo abantu abangi ennyo mu ngeri ey’ekitalo. |
|
| 8 |
|
| “Noolwekyo si mmwe mwansindika wano, wabula Katonda; era anfudde kitaawe wa Falaawo, era mukama w’ennyumba ye era omufuzi w’ensi yonna ey’e Misiri. |
|
| 9 |
|
| Kale mwanguwe, mwambuke eri kitange mumugambe nti, ‘Bw’ati mutabani wo Yusufu bw’agamba nti, Katonda anfudde mufuzi wa Misiri yenna; serengeta gye ndi, tolwa; |
|
| 10 |
|
| ojja kubeera mu Goseni, olibeera kumpi nange. Ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebisibo byammwe, amagana gammwe ne byonna bye mulina; |
|
| 11 |
|
| eyo gye nnaabagabiririranga; si kulwa nga mmwe n’ennyumba zammwe ne byonna bye mulina biggwaawo.’ |
|
| 12 |
|
| “Era kaakano mwerabiddeko n’amaaso gammwe era ne muganda wange Benyamini akyerabiddeko nti nze njogera nammwe. |
|
| 13 |
|
| Muteekwa okutegeeza kitange ekitiibwa kye nnina mu Misiri, ne byonna bye mulabye. Temulwa, muserengese kitange wano.” |
|
| 14 |
|
| Awo Yusufu n’agwa Benyamini mu kifuba n’akaaba ne Benyamini n’akaabira ku kibegabega kye. |
|
| 15 |
|
| N’agwa baganda be mu kifuba, n’akaabira buli omu ku bo; n’oluvannyuma baganda be ne boogera naye. |
|
| 16 |
|
| Ebigambo eby’okujja kwa baganda ba Yusufu bwe byawulirwa mu nnyumba ya Falaawo ne bisanyusa nnyo Falaawo n’abaweereza be. |
|
| 17 |
|
| Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Gamba baganda bo nti, ‘Mukole bwe muti: mutikke ensolo zammwe muddeyo mu nsi ya Kanani, |
|
| 18 |
|
| munone kitammwe n’abantu bammwe n’ebyammwe mujje gye ndi, ndibawa ekifo ekisinga obulungi mu nsi y’e Misiri, nammwe mulirya obulungi obw’ensi.’ |
|
| 19 |
|
| “Era balagire batwale amagaali okuva mu nsi y’e Misiri olw’abaana baabwe abato ne bakyala bammwe, mujje ne kitammwe. |
|
| 20 |
|
| Wabula ebintu byammwe tebibateganya nnyo, kubanga ebisinga obulungi mu Misiri yenna bijja kuba byammwe.” |
|
| 21 |
|
| Abaana ba Isirayiri ne bakola bwe batyo; Yusufu n’abawa amagaali, nga Falaawo bwe yalagira n’abawa n’entanda ey’omu kkubo. |
|
| 22 |
|
| Buli omu ku bo n’amuwa ebyambalo eby’okukyusa, naye ye Benyamini n’amuwa ebitundu bya ffeeza ebikumi bisatu n’ebyambalo eby’okuwanyisa emigogo etaano. |
|
| 23 |
|
| Kitaawe n’amuweereza endogoyi kkumi ezeetisse ebintu ebirungi eby’e Misiri n’endogoyi enkazi kkumi ezeetisse emmere, emigaati n’entanda ya kitaawe bw’aliba ajja. |
|
| 24 |
|
| Awo n’asiibula baganda be. Bwe baali bagenda n’abagamba nti, “Temuyombera mu kkubo.” |
|
| 25 |
|
| Bwe batyo ne bambuka okuva mu Misiri ne batuuka mu nsi ya Kanani eri kitaabwe Yakobo. |
|
| 26 |
|
| Bwe baatuuka ne bamutegeeza nti Yusufu akyali mulamu, era y’afuga ensi y’e Misiri yonna. Bwe yawulira ebyo n’awunga n’atasobola kubakkiriza. |
|
| 27 |
|
| Naye bwe baamutegeeza ebigambo bya Yusufu byonna bye yabagamba, era bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumutwala n’addamu omwoyo; |
|
| 28 |
|
| n’agamba nti, “Mmatidde, omwana wange Yusufu akyali mulamu. Nzija kugenda mulabe nga sinnafa.” |
|
|
|
|