1
Awo Isiraeri n'atwala byonna bye yalina n'agenda e Beeruseba, n'awaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.
2
Katonda n'ayogera ne Isiraeri mu kwolesebwa okw'ekiro, n'amugamba nti, “Yakobo, Yakobo.” N'addamu nti, “Nze nzuuno.”
3
N'ayogera nti, “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo; totya kuserengeta mu Misiri; kubanga ndikufuulira eyo eggwanga eddene.
4
Ndigenda naawe e Misiri, era sirirema kukuggyamu nate; era bw'olifa, Yusufu alikuziika.”
5
Yakobo n'asituka, n'ava e Beeruseba; batabani be ne bamuteeka ye, n'abaana baabwe ne bakazi baabwe, mu magaali kabaka w'e Misiri ge yaweereza okumutwaliramu.
6
Ne batwala ensolo zaabwe n'ebintu byabwe bye baafuna mu nsi ya Kanani, ne bagenda mu Misiri. Yakobo n'agenda n'ezzadde lye lyonna,
7
batabani be ne bazzukulu be ab'obulenzi n'ab'obuwala.
8
Gano ge mannya g'abaana ba Isiraeri abaagenda e Misiri, Yakobo ne batabani be: Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo.
9
Ne batabani ba Lewubeeni: Kanoki, Palu, Kezulooni, ne Kalumi.
10
Simyoni ne batabani be: Yemweri, Yamini, Okadi, Yakini, Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani.
11
Leevi ne Batabani be: Gerusoni, Kokasi, ne Merali.
12
Yuda ne batabani be: Eri, Onani, Seera, Pereezi, ne Zeera; naye Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani. Ne batabani ba Pereezi baali Kezulooni ne Kamuli.
13
Isakaali ne batabani be: Tola, Puva, Yobu, ne Simuloni.
14
Zebbulooni ne batabani be: Seredi, Eroni, ne Yaleeri.
15
Abo be batabani ba Leeya, be yazaalira Yakobo mu Padanalaamu, wamu ne muwala we Dina; abaana be bonna abasajja n'abakazi baali abantu asatu mu basatu (33).
16
Batabani ba Gaadi: Zifiyooni, Kagi, Suni, Ezeboni, Eri, Alodi, ne Aleri.
17
Batabani ba Aseri: Imuna, Isuva, Isuvi, Beriya, ne Seera mwannyinaabwe; ne batabani ba Beriya: Keberi, ne Malukiyeeri.
18
Abo ekkumi n'omukaaga (16), lye zzadde lya Yakobo eryasibuka mu Zirupa, omuzaana Labbani gwe yawa Leeya muwala we.
19
Batabani ba Laakeeri mukazi wa Yakobo: Yusufu ne Benyamini.
20
Mu nsi y'e Misiri, Asenansi, muwala wa Potifari, kabona w'e Oni yazaalira Yusufu abaana ab'obulenzi babiri: Manase ne Efulayimu.
21
Ne batabani ba Benyamini: Bera, Bekeri, Asuberi, Gera, Naamani, Eki, Losi, Mupimu, Kupimu, ne Aludi.
22
Abo ekkumi (10) n'abaana be batabani ba Laakeeri, be yazaalira Yakobo.
23
Ne mutabani wa Ddaani: Kusimu.
24
Batabani ba Nafutaali: Yazeeri, Guni, Yezeeri, ne Siremu.
25
Abo omusanvu (7) lye zzadde lya Yakobo eryasibuka mu Bira, omuzaana Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we.
26
Ezzadde lya Yakobo lyonna eryagenda mu Misiri, lyali abantu nkaaga mu mukaaga (66), nga tobaliddeemu baka batabani be.
27
Batabani ba Yusufu, abaamuzaalirwa mu Misiri, baali babiri. Abantu bonna ab'omu nnyumba ya Yakobo abaagenda mu Misiri baali nsanvu (70).
28
Yakobo n'atuma Yuda okumukulemberamu, agende eri Yusufu amusabe abasisinkane e Goseni. Awo ne batuuka mu nsi y'e Goseni.
29
Yusufu n'ateekateeka eggaali lye, n'ayambuka okusisinkana Isiraeri kitaawe, mu Goseni; n'amweyanjulira, n'amugwa mu kifuba, n'akaaba amaziga okumala ekiseera kinene.
30
Isiraeri n'agamba Yusufu nti, “Kaakano naafa bulungi kubanga nkulabyeko ne mmanya ng'okyali mulamu.”
31
Yusufu n'agamba baganda be n'ennyumba ya kitaawe nti, “Ka ŋŋende mbuulire Falaawo nti, ‘Baganda bange n'ennyumba ya kitange abaali mu nsi y'e Kanani, batuuse ewange.
32
Basajja basumba era abalunzi b'ebisolo; baleese endiga, ente, n'ebintu byabwe byonna.’
33
Awo Falaawo bw'alibayita n'ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’
34
Mumuddangamu nti, ‘Ffe abaddu bo tuli balunzi okuva mu buto n'okutuusa kaakati, era ne bajjajjaffe bwe baali;’ mulyoke mutuule mu nsi ey'e Goseni; kubanga kya muzizo Abamisiri okubeera awamu n'abasumba.”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.