n'aŋŋamba nti Laba, ndikwaza, ndikwongera, ndikufuula ekibiina ky'amawanga; era ndiwa ezzadde lyo eririddawo ensi eno okuba obutaka obw'emirembe n'emirembe.
Ne kaakano abaana bo abasajja bombi, abaakuzaalirwa mu nsi y'e Misiri nga sinnakujjira mu Misiri, bange; Efulayimu ne Manase banaabanga bange, nga Lewubeeni se Simyoni.
Nange, bwe nnava mu Padani, Laakeeri n'anfaako mu nsi ya Kanani mu kkubo, nga wakyaliyo ebbanga ddeneko okutuuka ku Efulasi: ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda e Efulasi (ye Besirekemu).
malayika eyannunula mu bubi bwonna, awe omukisa abalenzi; n'erinnya lyange lituumibwenga ku bo, n'erinnya lya bajjajja bange Ibulayimu ne Isaaka; era bafuuke ekibiina ekinene wakati mu nsi.
N'abasabira omukisa ku lunaku olwo, ng'ayogera nti Mu ggwe Isiraeri anaasabanga omukisa, ng'ayogera nti Katonda akufuule nga Efulayimu ne Manase: Efulayimu n'amusoosa Manase.