|
| 1 |
|
| Kino kye kitabo eky'okuzaalibwa kwa Adamu. Olunaku Katonda lwe yatonderamu omuntu, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamukolera; |
|
| 2 |
|
| omusajja n'omukazi bwe yabatonda; n'abawa omukisa, n'abatuuma erinnya lyabwe Adamu ku lunaku lwe baatonderwamu. |
|
| 3 |
|
| Adamu n'amala emyaka kikumi mu asatu, n'azaala omwana ow'obulenzi mu kifaananyi kye, mu ngeri ye; n'amutuuma erinnya lye Seezi: |
|
| 4 |
|
| eanaku za Adamu bwe yamala okuzaala Seezi emyaka lunaana, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. |
|
| 5 |
|
| Ennaku zonna eza Adamu ze yamala ne ziba emyaka lwenda mu asatu; n'afa. |
|
| 6 |
|
| Seezi n'amala emyaka kikumi mu ataano, n'azaala Enosi. |
|
| 7 |
|
| Seezi n'awangaala bwe yamala okuzaala Enosi emyaka lunaana mu musanvu n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala; |
|
| 8 |
|
| ennaku zonna eza Seezi ne ziba emyaka lwenda mu kkumi n'ebiri; n'afa. |
|
| 9 |
|
| Enosi n'amala emyaka kyenda, n'azaala Kenani: |
|
| 10 |
|
| Enosi n'awangaala bwe yamala okuzaala Kenani emyaka lunaana mu kkumi n'etaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: |
|
| 11 |
|
| ennaku zonna eza Enosi ne ziba emyaka lwenda mu etaano; n'afa. |
|
| 12 |
|
| Kenani n'amala emyaka nsanvu, n'azaala Makalaleri: |
|
| 13 |
|
| Kenani n'awangaala bwe yamala okuzaala Makalaleri emyaka lunaana mu ana, n’azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: |
|
| 14 |
|
| ennaku zonna eza Kenani ne ziba emyaka lwenda mu kkumi; n'afa. |
|
| 15 |
|
| Makalaleri n'amala emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Yakedi: |
|
| 16 |
|
| Makalaleri n'awangaala bwe yamala okuzaala Yaledi emyaka lunaana mu asatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: |
|
| 17 |
|
| ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano; n'afa. |
|
| 18 |
|
| Yaledi n'amala emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri, n'azaala Enoka; |
|
| 19 |
|
| Yaledi n'awangaala bwe yamala okuzaala Enoka emyaka lunaana, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: |
|
| 20 |
|
| ennaku zonna eza Yaledi ne ziba emyaka lwenda mu nkaaga mu ebiri; n'afa. |
|
| 21 |
|
| Enoka n'amala emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Mesuseera: |
|
| 22 |
|
| Enoka n'atambulira wamu ne Katonda bwe yamala okuzaala Mesuseera emyaka bisatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: |
|
| 23 |
|
| ennaku zonna eza Enoka ne ziba emyaka bisatu mu nkaaga mu etaano: |
|
| 24 |
|
| Enoka n'atambulira wamu ne Katonda: so n'atabeerawo; kubanga Katonda yamutwala. |
|
| 25 |
|
| Mesuseera n'amala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu, n’azaala Lameka: |
|
| 26 |
|
| Mesuseera n'awangaala bwe yamala okuzaala Lameka emyaka lusanvu mu kinaana mu ebiri, n'azaala abaana ab'obulelizi n'ab'obuwala: |
|
| 27 |
|
| ennaku zonna eza Mesuseera ne ziba emyaka lwenda mu nkaaga mu mwenda; n'afa. |
|
| 28 |
|
| Lameka n'amala emyaka kikumi mu kinaana mu ebiri, n'azaala omwana ow'obulenzi: |
|
| 29 |
|
| n'amutuuma erinnya lye Nuuwa, ng'ayogera nti Ono ye alitusanyusa mu mulimu gwaffe ne mu kutegana okw’emikono gyaffe olw’ensi Mukama gye yakolimira. |
|
| 30 |
|
| Lameka n'awangaala bwe yamala okuzaala Nuuwa emyaka bitaano mu kyenda mu etaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: |
|
| 31 |
|
| ennaku zonna eza Lameka ne ziba emyaka lusanvu mu nsanvu mu musanvu; n'afa. |
|
| 32 |
|
| Nuuwa yali nga yaakamala emyaka bitaano: Nuuwa n'azaala Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. |
|
|
|
|