|
| 1 |
|
| Luno lwe lukalala lw'abazzukulu ba Adamu. Katonda bwe yatonda abantu, yabatonda ne bamufaanana. |
|
| 2 |
|
| Yatonda omusajja n'omukazi, n'abawa omukisa, n'abatuuma erinnya nti “Bantu.” |
|
| 3 |
|
| Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, n'azaala omwana ow'obulenzi, amufaananira ddala, n'amutuuma erinnya Seeti. |
|
| 4 |
|
| Adamu yawangaala emyaka emirala lunaana ng'amaze okuzaala Seeti. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, |
|
| 5 |
|
| n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu asatu. |
|
| 6 |
|
| Seeti bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano, n'azaala Enosi. |
|
| 7 |
|
| Seeti n'awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, |
|
| 8 |
|
| n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu kkumi n'ebiri. |
|
| 9 |
|
| Enosi bwe yaweza emyaka kyenda, n'azaala Kenani. |
|
| 10 |
|
| Enosi n'awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n'etaano, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, |
|
| 11 |
|
| n'afa nga wa myaka lwenda mu etaano. |
|
| 12 |
|
| Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu, n'azaala Mahalaleeli. |
|
| 13 |
|
| Kenani n'awangaala emyaka emirala lunaana mu ana. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, |
|
| 14 |
|
| n'afa nga wa myaka lwenda mu kkumi. |
|
| 15 |
|
| Mahalaleeli bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Yaredi, |
|
| 16 |
|
| Mahalaleeli n'awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, |
|
| 17 |
|
| n'afiira ku myaka lunaana mu kyenda mu etaano. |
|
| 18 |
|
| Yaredi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri, n'azaala Enoka. |
|
| 19 |
|
| Yaredi n'awangaala emyaka emirala lunaana. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, |
|
| 20 |
|
| n'afa ng'aweza emyaka lwenda mu nkaaga mu ebiri. |
|
| 21 |
|
| Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Metuseela. |
|
| 22 |
|
| Enoka n'awangaala emyaka emirala ebikumi bisatu, ng'atambulira wamu ne Katonda. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. |
|
| 23 |
|
| Yaweza emyaka egy'obukulu ebikumi bisatu mu nkaaga mu etaano. |
|
| 24 |
|
| Obulamu bwe bwonna yabumala wamu ne Katonda, oluvannyuma n'atalabikako nate, kubanga Katonda yamutwala. |
|
| 25 |
|
| Metuseela bwe yaweza emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu, n'azaala Lameka. |
|
| 26 |
|
| Metuseela n'awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, |
|
| 27 |
|
| n'afiira ku myaka lwenda mu nkaaga mu mwenda. |
|
| 28 |
|
| Lameka bwe yaweza emyaka kikumi mu kinaana mu ebiri, n'azaala omwana ow'obulenzi. |
|
| 29 |
|
| N'agamba nti: “Ono ye alituleetera okuweerako mu mirimu gyaffe, ne mu kutegana kwaffe, mu nsi Mukama gye yakolimira.” N'amutuuma erinnya Noowa. |
|
| 30 |
|
| Lameka yawangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano. N'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala, |
|
| 31 |
|
| n'afa ng'awezezza emyaka lusanvu mu nsavu mu musanvu. |
|
| 32 |
|
| Noowa bwe yali ng'aweza emyaka bitaano, n'azaala Seemu ne Haamu ne Yafeeti. |
|
|
|
|