|
| 1 |
|
| Luno lwe lulyo lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda. |
|
| 2 |
|
| Yabatonda omusajja n’omukazi, n’abawa omukisa n’abatuuma, “abantu.” |
|
| 3 |
|
| Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, n’azaala omwana owoobulenzi amufaanana, mu kifaananyi kye, n’amutuuma Seezi. |
|
| 4 |
|
| Seezi bwe yamala okuzaalibwa, Adamu n’amala emyaka lunaana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
|
| 5 |
|
| Emyaka gyonna Adamu gye yamala gyali lwenda mu asatu, n’afa. |
|
| 6 |
|
| Seezi bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano n’azaala Enosi. |
|
| 7 |
|
| Seezi bwe yamala okuzaala Enosi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
|
| 8 |
|
| Bwe gityo emyaka gyonna egya Seezi ne giba lwenda mu kkumi n’ebiri n’alyoka afa. |
|
| 9 |
|
| Enosi bwe yaweza emyaka kyenda n’azaala Kenani. |
|
| 10 |
|
| Enosi bwe yamala okuzaala Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n’etaano, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
|
| 11 |
|
| Bwe gityo emyaka gyonna Enosi gye yamala ne giba lwenda mu etaano; n’alyoka afa. |
|
| 12 |
|
| Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu n’azaala Makalaleri. |
|
| 13 |
|
| Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu ana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
|
| 14 |
|
| Emyaka gyonna Kenani gye yamala ne giba lwenda mu kkumi. |
|
| 15 |
|
| Makalaleri bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Yaredi. |
|
| 16 |
|
| Bwe yamala okuzaala Yaredi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
|
| 17 |
|
| Ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano, n’afa. |
|
| 18 |
|
| Yaredi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri n’azaala Enoka. |
|
| 19 |
|
| Yaredi bwe yamala okuzaala Enoka n’awangaala emyaka emirala lunaana, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
|
| 20 |
|
| Bwe gityo emyaka gyonna Yaredi gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu ebiri, n’afa. |
|
| 21 |
|
| Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Mesuseera. |
|
| 22 |
|
| Enoka n’atambulira wamu ne Katonda, okumala emyaka ebikumi bisatu nga Mesuseera amaze okuzaalibwa, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
|
| 23 |
|
| Bwe gityo emyaka gyonna egya Enoka ne giba ebikumi bisatu mu nkaaga mu etaano. |
|
| 24 |
|
| Enoka yatambula ne Katonda, n’ataddamu kulabika, kubanga Katonda yamutwala. |
|
| 25 |
|
| Mesuseera bwe yali nga yaakamala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu n’azaala Lameka. |
|
| 26 |
|
| Bwe yamala okuzaala Lameka n’awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
|
| 27 |
|
| Bwe gityo emyaka gyonna Mesuseera gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu mwenda; n’afa. |
|
| 28 |
|
| Lameka bwe yali nga wa myaka kikumi mu kinaana mu ebiri n’azaala omwana owoobulenzi |
|
| 29 |
|
| n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, “Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.” |
|
| 30 |
|
| Lameka n’awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano ng’amaze okuzaala Nuuwa, mu gyo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
|
| 31 |
|
| Bwe gityo emyaka gyonna Lameka gye yawangaala ne giba lusanvu mu nsanvu mu musanvu. |
|
| 32 |
|
| Nuuwa bwe yaweza emyaka ebikumi bitaano n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. |
|
|
|
|