|
| 1 |
|
| Kino kye kitabo ky'olunnyiriri lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukolera mu kifaananyi kya Katonda. |
|
| 2 |
|
| Ya batonda omusajja n'omukazi; n'abawa omukisa. Bwe yabatonda n'abayita omuntu. |
|
| 3 |
|
| Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu (130), n'azaala omwana ow'obulenzi amufaananira ddala mu byonna; n'amutuuma erinnya lye Seezi. |
|
| 4 |
|
| Adamu yawangaala emyaka emirala lunaana (800) ng'amaze okuzaala Seezi. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala; |
|
| 5 |
|
| Adamu n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu asatu (930). |
|
| 6 |
|
| Seezi bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano (105), n'azaala Enosi. |
|
| 7 |
|
| Seezi n'awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu (807) ng'amaze okuzaala Enosi. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala; |
|
| 8 |
|
| Seezi n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu kkumi n'ebiri (912). |
|
| 9 |
|
| Enosi bwe yaweza emyaka kyenda (90), n'azaala Kenani. |
|
| 10 |
|
| Enosi n'awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n'etaano (815) ng'amaze okuzaala Kenani. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. |
|
| 11 |
|
| Enosi n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu etaano (905). |
|
| 12 |
|
| Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu (70) n'azaala Makalaleri. |
|
| 13 |
|
| Kenani n'awangaala emyaka emirala lunaana mu ana (840). Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. |
|
| 14 |
|
| Kenani n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu kkumi (910). |
|
| 15 |
|
| Makalaleri bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano (65) n'azaala Yaledi. |
|
| 16 |
|
| Makalaleri n'awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu (830) ng'amaze okuzaala Yaledi. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. |
|
| 17 |
|
| Makalaleri n'afa ng'awezezza emyaka lunaana mu kyenda mu etaano (895). |
|
| 18 |
|
| Yaledi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri (162) n'azaala Enoka. |
|
| 19 |
|
| Yaledi n'awangaala emyaka emirala lunaana (800) ng'amaze okuzaala Enoka. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. |
|
| 20 |
|
| Yaledi n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu nkaaga mu ebiri (962). |
|
| 21 |
|
| Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano (65), n'azaala Mesuseera. |
|
| 22 |
|
| Enoka bwe yamala okuzaala Mesuseera n'awangaala emyaka emirala bisatu (300), ng'atambulira wamu ne Katonda. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. |
|
| 23 |
|
| Enoka yawangaala emyaka bisatu mu nkaaga mu etaano (365). |
|
| 24 |
|
| Enoka n'atambulira wamu ne Katonda, so n'atabeerawo; kubanga Katonda yamutwala. |
|
| 25 |
|
| Mesuseera bwe yaweza emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu (187) n'azaala Lameka. |
|
| 26 |
|
| Mesuseera n'awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri (782). Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala. |
|
| 27 |
|
| Mesuseera n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu nkaaga mu mwenda (969). |
|
| 28 |
|
| Lameka bwe yaweza emyaka kikumi mu kinaana mu ebiri (182), n'azaala omwana ow'obulenzi, |
|
| 29 |
|
| n'amutuuma erinnya lye Nuuwa, ng'ayogera nti, “Ono ye alituleetera okuweerako mu mirimu gyaffe, ne mu kutegana kwaffe mu nsi Mukama gye yakolimira.” |
|
| 30 |
|
| Lameka n'awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano (595). Yazaala n'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. |
|
| 31 |
|
| Lameka n'afa ng'awezezza emyaka lusanvu mu nsanvu mu musanvu (777). |
|
| 32 |
|
| Nuuwa nga awezeza emyaka bitaano (500), n'azaala Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. |
|
|
|
|