Ne bamala ennaku ana nga bamukalirira; kubanga bwe zityo ennaku ez'okukaliriramu bwe zenkana okuzimala: Abamisiri ne bamala ennaku nsanvu nga bakumye olumbe ku bubwe.
Awo ennaku ez'okumukaabira bwe zaggwa, Yusufu n'agamba ennyumba ya Falaawo nti Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso gammwe, mbeegayiridde, mwogerere mu matu ga Falaawo nti
Kitange yandayiza ng'ayogera nti Laba, nfa: mu ntaana gye nneesimira mu nsi ya Kanani mw'olinziika. Kale kaakano nkwegayiridde, nnyambuke, nziike kitange, era ndikomawo.
N'abo abaatuulanga mu nsi, Abakanani, bwe baalaba nga bakaabira mu gguliro lya Atadi, ne boogera nti Okukaaba kuno kungi eri Abamisiri: kyeryava lituumibwa erinnya Aberumiziraimu, ekiri emitala wa Yoludaani.
bwe kityo abaana be ne bamusitula ne bamutwala mu nsi ya Kanani, ne bamuziika mu mpuku ey'omu nnimiro ya Makupeera, Ibulayimu gye yagula awamu n'ennimiro, okuba obutaka okuziikangamu, eri Efulooni Omukiiti, eri mu maaso ga Mamule.
Yusufu n'agamba baganda be nti Nfa: naye Katonda telirema kubajjira n'okubaggya mu nsi eno okubatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.