BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Katonda n'awa Nowa ne batabani be omukisa, n'ayogera gye bali nti: “Mwale, mweyongere, mujjuze ensi. |
| 2 |
| Mujja kukuba entiisa mukankanye ebisolo byonna eby'oku nsi n'ebinyonyi byonna eby'omu bbanga, byonna ebitambula ku lukalu n'ebyennyanja byonna mu nnyanja; byonna biweereddwa mu mikono gyammwe. |
| 3 |
| Buli ekitambula ekiramu y'eriba emmere yammwe, kye kimu ne ku bimera, byonna mbibawadde. |
| 4 |
| Kyokka temulyanga ennyama erimu obulamu, kwe kugamba nti erimu omusaayi. |
| 5 |
| Nzija kusabanga munyinnyonnyole ensonga olw'omusaayi gwammwe. Nzija kukisabanga ne ku buli nsolo. Buli muntu nzija kumubanjanga obulamu bwa muntu munne. |
| 6 |
| “Buli yenna aliyiwa omusaayi gw'omuntu, n'ogugwe omuntu aliguyiwa; kubanga omuntu Katonda yamukola mu kifaananyi kye. |
| 7 |
| Nammwe mwale, mweyongere obungi, mubune ku nsi, mweyongere ku yo.” |
| 8 |
| Katonda n'agamba Nowa ne batabani be abaali naye nti: |
| 9 |
| “Kati ŋŋenda okukola endagaano yange nammwe, n'ezzadde lyammwe eriribaddirira |
| 10 |
| na buli kiramu kyonna ekiri nammwe: ebinyonyi, ebisolo by'awaka n'ebisolo byonna eby'oku nsi. Na buli kiramu kyonna ekifulumye mu kyombo, ne buli kiramu kyonna eky'ensi. |
| 11 |
| Nzija kukola endagaano nammwe; ekiramu kyonna tekigenda kuddayo kusalwako mazzi ga mujjuzi, era teriddayo kubaawo mujjuzi gulisaanyaawo nsi.” |
| 12 |
| Era Katonda n'agamba nti: “Kano ke kabonero k'endagaano ey'olubeerera gye nkoze nammwe n'ebitonde byonna ebiri nammwe. |
| 13 |
| Ŋŋenda kussa musoke wange mu bire y'aliba akabonero k'endagaano gye nkoze n'ensi. |
| 14 |
| Bwe nnaaleetanga ebire ku nsi, musoke n'alabika mu bire, |
| 15 |
| nnajjukiranga endagaano yange nammwe na buli kiramu kyonna; tewalibeerawo mazzi ga mujjuzi mulundi mulala okuzikiriza buli kiramu. |
| 16 |
| Musoke bw'aliba mu bire, ndimulaba ne nzijukira endagaano ey'olubeerera, wakati wa Katonda na buli kiramu kyonna ekya buli kika ekiri ku nsi.” |
| 17 |
| Katonda n'agamba Nowa nti: “Kano ke kabonero k'endagaano gye nkoze wakati wange na buli kiramu kyonna ku nsi.” |
| 18 |
| Batabani ba Nowa abaava naye mu kyombo be bano: Seemu, Kaamu ne Yafesi. Kaamu ono ye kitaawe wa Kanaani. |
| 19 |
| Abasatu abo be batabani ba Nowa, mu abo mwe mwava abantu abali ku nsi yonna. |
| 20 |
| Nowa, eyali omulimi, n'asooka okusimba ennimiro y'emizabbibu; |
| 21 |
| bwe yanywa ku vviini, n'atamiira, ne yeebaka mu weema ye nga teyeebisseeko. |
| 22 |
| Kaamu kitaawe wa Kanaani bwe yalaba obwereere bwa kitaabwe, n'agenda, n'abuulira baganda be ababiri abaali ebweru. |
| 23 |
| Bo Seemu ne Yafesi ne baddira olugoye, ne balussa ku bibegabega byabwe bombi, ne bajja kyennyumannyuma ne babikka ku kitaabwe, amaaso gaabwe nga bagatunuulizza eri, tebaalaba bwereere bwa kitaabwe. |
| 24 |
| Nowa evviini bwe yamwamukako, n'amanya mutabani we asingayo obuto kye yali amukoze, |
| 25 |
| n'agamba nti: “Kanaani avumiriddwa. Ku baganda be y'anaabanga omuddu asembayo.” |
| 26 |
| Ate n'agamba nti: “Omukama agulumizibwe, Katonda wa Seemu, Kanaani abeere muddu we. |
| 27 |
| Katonda agaziye Yafesi; asulenga mu weema za Seemu, ne Kanaani naye abeerenga muddu we.” |
| 28 |
| Omujjuzi bwe gwaggwa, Nowa n'awangaalayo emyaka emirala bikumi bisatu mu ataano. |
| 29 |
| Ebbanga lyonna lye yamala ku nsi ne giba emyaka lwenda mu ataano, n'afa. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/genesis/009.mp3
50
9