Dawudi n'ayogera nti, “N'akola Kanuni mutabani wa Nakasi eby'ekisa, nga kitaawe bwe yankolera nange eby'ekisa.” Awo Dawudi n'atuma abaddu be okumukubagiza olwa kitaawe. Abaddu ba Dawudi ne batuuka mu nsi ey'abaana ba Amoni.
Awo abaana ba Amoni ne bafuluma ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu mulyango; n'Abasuuli ab'e Zoba n'ab'e Lekobu n'abasajja ab'e Tobu ne Maaka baali bokka ku ttale.
Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, era nabo ne badduka mu maaso ga Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'alyoka ava ku baana ba Amoni n'addayo e Yerusaalemi.
Ne babuulira Dawudi; n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna, n'asomoka Yoludaani n'ajja e Keramu. Abasuuli ne basimba ennyiriri okwolekera Dawudi ne balwana naye.
Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batabagana ne Isiraeri, ne babaweereza. Awo Abasuuli ne batya okweyongera nate okuyamba abaana ba Amoni.