Kabaka n'agamba Ziba nti Bino amakulu gaabyo ki? Ziba n'ayogera nti Endogoyi za ba mu nnyumba ya kabaka okwebagalanga; n'emigaati n'ebibala eby'ekyeya bya balenzi okulya; n'omwenge abaliyongobera mu ddungu banywe.
Kabaka n'ayogera nti N'omwana wa mukama wo ali ludda wa? Ziba n'agamba kabaka nti Laba, abeera e Yerusaalemi: kubanga ayogedde nti Leero ennyumba ya Isiraeri erinziriza obwakabaka bwa kitange.
Mukama azzizza ku ggwe omusaayi gwonna ogw'ennyumba ya Sawulo, mu kifo kye mw'oyima okufuga; era Mukama awaddeyo obwakabaka mu mukono gwa Abusaalomu mutabani wo: era, laba, oteegeddwa mu lukwe lwo ggwe, kubanga oli musajja wa musaayi.
Kabaka n'ayogera nti Nfaayo ki eri mmwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Kubanga akolima era kubanga Mukama amugambye nti Kolimira Dawudi; kale anaayogera nti Kiki ekikukozezza bw'otyo?
Awo Dawudi n'abasajja be ne batambula mu kkubo: Simeeyi n'ayita ku lusozi okumwolekera, n'akolima ng'agenda, n'amukasuukirira amayinja n'ayiwa enfuufu.