Era nate Kusaayi n'ayogera nti Omanyi kitaawo n'abasajja be nga basajja ba maanyi, era nga baliko obusungu mu myoyo gyabwe, ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo ku ttale: era kitaawo musajja mulwanyi, so talisula na bantu.
Laba, kaakano yeekwese mu bunnya oba walala: awo olunaatuuka bwe wanaabaawo ku bo abamu abanaagwa olubereberye, buli anaawulira anaayogera nti Wabaddewo okuttibwa kungi mu bantu abagoberera Abusaalomu.
Era nate bw'aliba nga agenze mu kibuga, kale Isiraeri yenna alireeta emigwa eri ekibuga ekyo, ne tukiwalulira mu mugga, okutuusa lwe watalirabikayo kayinja n'akamu.
Awo Kusaayi n'agamba Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti Bw'atyo ne bw'atyo Akisoferi bw'awadde amagezi Abusaalomu n'abakadde ba Isiraeri: nange mmuwadde amagezi bw'entyo ne bwe ntyo.
Era Yonasaani ne Akimaazi ne babeera ku Enerogeri; omuzaana n'agendanga n'ababuulira; ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi: kubanga tebandiyinzise kulabika nga bayingira mu kibuga.
Naye omulenzi n'abalaba n'abuulira Abusaalomu: ne bagenda bombi mangu ne bajja mu nnyumba ey'omusajja e Bakulimu, eyalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo.
Awo abaddu ba Abusaalomu ne bajja eri omukazi mu nnyumba; ne boogera nti Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa? Omukazi n'abagamba nti Basomose akagga ak'amazzi. Awo bwe baamala okubanoonya ne batayinza kubalaba, ne baddayo e Yerusaalemi.
Awo olwatuuka nga bamaze okugenda ne balinnya ne bava mu luzzi ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi: ne bagamba Dawudi nti Mugolokoke musomoke amazzi mangu: kubanga gano ge magezi Akisoferi g'abasalidde.
Awo Akisoferi bwe yalaba nga tebakutte kigambo kyateesezza, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agolokoka n'addayo eka mu kibuga kye, n'alongoosa ennyumba ye, ne yeetuga; n'afa ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe.
Abusaalomu n'afuula Amasa omukulu w'eggye mu kifo kya Yowaabu. Era Amasa yali mwana wa musajja erinnya lye Isira Omuisiraeri eyayingira eri Abbigayiri muwala wa Nakasi, muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu.
Awo olwatuuka Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow'e Labba eky'abaana ba Amoni ne Makiri mutabani wa Ammiyeri ow'e Lodebali ne Baluzirayi Omugireyaadi ow'e Logerimu,