Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti Nnyambuke mu kyonna ku bibuga bya Yuda? Mukama n'amugamba nti Yambuka. Dawudi n'ayogera nti Naayambuka wa? N'ayogera nti e Kebbulooni.
Awo abasajja ba Yuda ne bajja, ne bafukira eyo amafuta ku Dawudi okuba kabaka w'ennyumba ya Yuda. Ne bamubuulira Dawudi nti ab'e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo.
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'abaddu ba Dawudi ne bafuluma ne basisinkana nabo ku kidiba eky'e Gibyoni; ne batuula, bano emitala w'eno w'ekidiba, na bali emitala w'eri w'ekidiba.
Naye n'agaana okukyama: Abuneeri kyeyava amufumita olubuto n'omuwunda gw'effumu, effumu ne liyitamu ne ligukkira ennyuma we; n'agwira awo n'afiira mu kifo omwo: awo olwatuuka abo bonna abaatuuka mu kifo Asakeri we yagwira n'afa ne bayimirira.
Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bagoberera Abuneeri: awo enjuba n'egwa nga batuuse ku lusozi Amma, oluli mu maaso g'e Giya mu kkubo ery'eddungu ery'e Gibyoni.
Awo Yowaabu n'addayo ng'alese okugoberera Abuneeri: awo bwe yakuŋŋaanya abantu bonna, ku baddu ba Dawudi nga kubuzeeko abasajja kkumi na mwenda ne Asakeri.
Ne basitula Asakeri ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe eyali mu Besirekemu. Yowaabu n'abasajja be ne batambula ne bakeesa obudde, ne bubakeererera e Kebbulooni.