|
| 1 |
|
| Awo Dawudi n’ayimbira Mukama ebigambo eby’oluyimba luno, Mukama bwe yamulokola mu mukono gw’abalabe be ne mu mukono gwa Sawulo. |
|
| 2 |
|
| N’ayogera nti, “ Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange; |
|
| 3 |
|
| Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka, ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange. Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange; ggwe ondokola eri abantu ababi. |
|
| 4 |
|
| Nkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa, n’andokola eri abalabe bange. |
|
| 5 |
|
| “Amayengo ag’okufa ganzingiza; embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira. |
|
| 6 |
|
| Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola; n’emitego gy’okufa ne ginjolekera. |
|
| 7 |
|
| Mu nnaku yange nakoowoola Mukama; nakoowoola Katonda wange. Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye; n’okukaaba kwange kwamutuukako. |
|
| 8 |
|
| “Ensi n’ekankana n’ejjugumira, emisingi gy’eggulu ne ginyeenyezebwa, ne gikankanyizibwa kubanga yali asunguwadde. |
|
| 9 |
|
| Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, n’omuliro ne guva mu kamwa ke, n’amanda agaaliko omuliro ne gava mu ye. |
|
| 10 |
|
| Yayabuluza eggulu n’akka wansi; ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye. |
|
| 11 |
|
| Ne yeebagala kerubi n’abuuka, n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo. |
|
| 12 |
|
| Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira, n’ebire ebikutte okuba ekitaba ky’amazzi. |
|
| 13 |
|
| Okumasamasa okwali mu maaso ge kwayakisa amanda ag’omuliro. |
|
| 14 |
|
| Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; Ali Waggulu Ennyo n’ayogera mu ddoboozi lye. |
|
| 15 |
|
| Yalasa obusaale n’asaasaanya abalabe n’okumyansa okw’eggulu, n’abawangula. |
|
| 16 |
|
| Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa n’emisingi gy’ensi ne gyeruka olw’okunenya kwa Mukama n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo ze. |
|
| 17 |
|
| “Yasinzira waggulu n’antwala n’ansika mu mazzi amangi. |
|
| 18 |
|
| Yamponya abalabe bange ab’amaanyi abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi. |
|
| 19 |
|
| Bannumba mu nnaku yange naye Mukama n’ampanirira. |
|
| 20 |
|
| Yandeeta mu kifo ekigazi; yandokola kubanga yansanyukira. |
|
| 21 |
|
| “ Mukama yampa empeera yange ng’obutuukirivu bwange bwe bwali; n’ansasula ng’obulongoofu bwe ngalo zange bwe buli. |
|
| 22 |
|
| Ntambulidde mu kkubo lya Mukama, era sivanga ku Katonda wange okukola ebitali bya butuukirivu. |
|
| 23 |
|
| Amateeka ge gonna gaali mu maaso gange, era ssaava ku biragiro bye. |
|
| 24 |
|
| Sizzanga na musango mu maaso ge, era neekuumye eri obutali butuukirivu. |
|
| 25 |
|
| Mukama kyavudde ansasula ng’obutuukirivu bwange bwe buli, era ng’obulongoofu bwange bwe buli mu maaso ge. |
|
| 26 |
|
| “Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa; n’eri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango; |
|
| 27 |
|
| eri omulongoofu weeraga okuba omulongoofu n’eri omukujjukujju ne weeraga okuba omukujjukujju okumusinga. |
|
| 28 |
|
| Olokola abantu abawombeefu, naye amaaso go ganoonya ab’amalala n’obakkakkanya. |
|
| 29 |
|
| Oli ttaala yange, Ayi Mukama era Mukama wange yammulisiza mu nzikiza yange. |
|
| 30 |
|
| Ku lulwe mpangula eggye, era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe. |
|
| 31 |
|
| Ekkubo lya Katonda golokofu, n’ekigambo kye kituukirira; era ngabo eri abo bonna abaddukira gy’ali. |
|
| 32 |
|
| Kubanga ani Katonda wabula Mukama, era ani lwazi okuggyako Katonda waffe? |
|
| 33 |
|
| Katonda kye kiddukiro kyange, era alongoosa ekkubo lyange. |
|
| 34 |
|
| Ebigere byange abifuula okuba ng’eby’ennangaazi, era ampanirira mu bifo ebya waggulu. |
|
| 35 |
|
| Anteekateeka okulwana entalo, era n’ansobozesa okulasa obusaale obw’ebikomo. |
|
| 36 |
|
| Ompadde engabo ey’obulokozi bwo, ne weefeebya ne wessa wansi olyoke onfuule ow’ekitiibwa. |
|
| 37 |
|
| Ogaziyizza ekkubo mwe mpita, n’obukongovvule bwange tebukoonagana. |
|
| 38 |
|
| “Nagoba abalabe bange ne mbazikiriza, so saakyuka kudda mabega okutuusa lwe baamalibwawo. |
|
| 39 |
|
| Na babetentera ddala ne batayinza kuyimuka, era bali wansi w’ebigere byange. |
|
| 40 |
|
| Wampa amaanyi okulwana entalo, n’oteeka abo abanjigganya wansi wange. |
|
| 41 |
|
| Waleetera abalabe bange okunziruka, ne nsanyaawo abo abankyawa. |
|
| 42 |
|
| Baalindirira okuyambibwa naye ne wataba n’omu ababeera, ne bakaabira Mukama, naye n’atabaanukula. |
|
| 43 |
|
| Nabasekulasekula ne bafuuka ng’enfuufu ey’oku nsi, ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ng’ebitosi eby’omu nguudo. |
|
| 44 |
|
| “Ondokodde mu nnumbagana ez’abantu bange, n’onfuula omukulu w’amawanga; abantu be saamanya be bampeereza. |
|
| 45 |
|
| Bannaggwanga bajja gye ndi nga beegayirira, bwe bawulira eddoboozi lyange ne baŋŋondera. |
|
| 46 |
|
| Bonna baggwaamu omwoyo, ne bajja nga bakankana okuva gye beekwese. |
|
| 47 |
|
| “ Mukama mulamu! Olwazi lwange yeebazibwe. Agulumizibwe Katonda wange, olwazi lwange, era obulokozi bwange. |
|
| 48 |
|
| Oyo ye Katonda ampalanira eggwanga, era ateeka amawanga wansi wange; |
|
| 49 |
|
| anziggya mu balabe bange. Wangulumiza okusinga abalabe bange, n’ondokola okuva mu basajja abakambwe. |
|
| 50 |
|
| Kyenaava nkutenderezanga, Ayi Mukama Katonda, mu mawanga gonna, era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo. |
|
| 51 |
|
| Kabaka we amuwadde obuwanguzi obw’amaanyi, era alaze okwagala okutayogerekeka eri oyo gwe yafukako amafuta, eri Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.” |
|
|
|
|