Bino bye bigambo bya Dawudi eby'enkomerero. Dawudi mutabani wa Yese ayogera, Era omusajja eyagulumizibwa waggulu ayogera, Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta, Era asanyusa olwa zabbuli za Isiraeri:
Mazima ennyumba yange si bw'eri bw'etyo eri Katonda; Naye yalagaana nange endagaano eterivaawo, Eyeeteeseteese mu byonna era ey'enkalakkalira; Kubanga bwe bulokozi bwange bwonna era kye nneegomba kyonna, Newakubadde nga takikuza.
Ne Samma mutabani wa Agee Omukalali ye yamuddirira. Awo Abafirisuuti baali bakuŋŋaanye okuba ekibiina awaali omusiri ogw'ebijanjaalo; abantu ne badduka Abafirisuuti.
N'abasatu ku bakulu amakumi asatu ne baserengeta ne bajja eri Dawudi mu biro eby'amakungula eri empuku Adulamu; n'ekibiina ky'Abafirisuuti baali basiisidde mu kiwonvu Lefayimu.
N'abasajja abasatu ab'amaanyi ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu, olwali ku wankaaki, ne bagatwala ne bagaleetera Dawudi: naye n'atakkiriza kunywako, naye n'agafuka eri Mukama.
Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'abasatu abo. N'agalula effumu lye okulwana n'ebikumi bisatu n'abatta n'aba n'erinnya mu abo abasatu:
Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w'omusajja omuzira ow'e Kabuzeeri, eyakola eby'amaanyi, n'atta batabani ba Aliyeri wa Mowaabu bombi: era yaserengeta n'atta empologoma wakati mu bunnya mu biro eby'omuzira: