Awo ne wabangawo obulwa bungi eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi: Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba n'amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongerayongeranga okuba ennafu.
Awo ebigambo bya Isubosesi ne bisunguwaza nnyo Abuneeri, n'ayogera nti Nze mutwe gw'embwa ogwa Yuda? Leero ndaga ekisa ennyumba ya Sawulo kitaawo, baganda be, ne mikwano gye, ne sikuwaayo mu mukono gwa Dawudi, era naye onnanze omusango ogw'omukazi oyo.
Awo Abuneeri n'atumira Dawudi ababaka ku bubwe ye, ng'ayogera nti Nannyini nsi ye ani? era nti Lagaana nange, era, laba, omukono gwange guliba naawe okukukyukiza Isiraeri yenna.
kale nno kaakano mukikole: kubanga Mukama yayogera ku Dawudi nti Mu mukono gw'omuddu wange Dawudi bwe ndirokola abantu bange Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gw'abalabe baabwe bonna.
Abuneeri n'ayogera ne mu matu ga Benyamini: era Abuneeri n'agenda okwogera ne mu matu ga Dawudi e Kebbulooni byonna Isiraeri n'ennyumba yonna eya Benyamini bye baasiima.
Awo Abuneeri n'agamba Dawudi nti Naagolokoka ne ŋŋenda ne nkuŋŋaanya Isiraeri yenna eri mukama wange kabaka, balagaane endagaano naawe, era ofuge bonna emmeeme yo be yeegomba. Dawudi n'asindika Abuneeri n'agenda mirembe.
Awo, laba, abaddu ba Dawudi ne Yowaabu ne bakomawo okukwekweta, ne baleeta nabo omunyago omungi: naye Abuneeri teyali ne Dawudi e Kebbulooni; kubanga yali amusindise, naye ng'agenze mirembe.
Awo Yowaabu n'eggye lyonna eryali naye bwe baatuuka, ne babuulira Yowaabu nti Abuneeri mutabani wa Neeri yazze eri kabaka, era yamusindise, era yagenze mirembe.
gugwe ku mutwe gwa Yowaabu ne ku nnyumba yonna eya kitaawe; so mu nnyumba ya Yowaabu temubulanga muziku oba mugenge oba eyeesigama ku muggo oba agwa n'ekitala oba abulwa emmere.