|
| 1 |
|
| Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula: Dawudi n'aggyayo olukoba lw'ekibuga nnyina w'ensi mu mukono gw'Abafirisuuti. |
|
| 2 |
|
| N'akuba Mowaabu, n'abagera n'omugwa, ng'abagalamiza wansi; n'agerako emigwa ebiri egy'okutta n'omugwa ogumu omulamba ogw'okuwonya abalamu. Abamowaabu ne bafuuka baddu ba Dawudi ne baleeta ebirabo. |
|
| 3 |
|
| Era Dawudi n'akuba ne Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba, bwe yagenda okujeemulula amatwale ge ku Mugga. |
|
| 4 |
|
| Dawudi n'amuggyako abasajja abeebagala embalaasi lukumi mu lusanvu, n'abatambula n'ebigere obukumi bubiri: Dawudi n'azitema enteega embalaasi zonna ez'amagaali, naye n'aterekako ez'amagaali kikumi. |
|
| 5 |
|
| Awo Abasuuli ab'e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadadezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja obukumi bubiri mu enkumi bbiri. |
|
| 6 |
|
| Awo Dawudi n'ateeka ebigo mu Busuuli obw'e Ddamasiko: Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne baleeta ebirabo. Mukama n'amuwanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga. |
|
| 7 |
|
| Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadadezeri n'azitwala e Yerusaalemi. |
|
| 8 |
|
| Ne mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga bya Kadadezeri, kabaka Dawudi n'aggyamu ebikomo ebyayingirira obungi. |
|
| 9 |
|
| Awo Toyi kabaka w'e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadadezeri, |
|
| 10 |
|
| awo Toyi n'atuma Yolaamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza, kubanga alwanye ne Kadadezeri n'amukuba: kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu n'aleeta wamu naye ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebintu eby'ebikomo: |
|
| 11 |
|
| n'ebyo kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu ne ffeeza ne zaabu gye yawonga gye yaggya ku mawanga gonna ge yawangula; |
|
| 12 |
|
| ku Busuuli ne Mowaabu n'abaana ba Amoni n'Abafirisuuti ne Amaleki ne ku munyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba. |
|
| 13 |
|
| Dawudi ne yeefunira erinnya bwe yakomawo ng'amaze okukuba Abasuuli mu Kiwonvu eky'Omunnyo, abasajja kakumi mu kanaana. |
|
| 14 |
|
| N'ateeka ebigo mu Edomu; yateeka ebigo okubuna Edomu, Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'amuwanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga. |
|
| 15 |
|
| Awo Dawudi n'afuga Isiraeri yenna: Dawudi n'asalira abantu be bonna emisango gya nsonga era gya mazima. |
|
| 16 |
|
| Ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'eggye; ne Yekosaffaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza: |
|
| 17 |
|
| ne Zadoki mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; ne Seroya ye yali omuwandiisi; |
|
| 18 |
|
| ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; ne batabani ba Dawudi be baali abakulu. |
|
|
|
|