BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Oluvannyuma, Dawudi yawangula Abafilisitiini n'abafufuggaliza ddala. Yaggya Metegi-Amma mu mikono gy'Abafilisitiini. |
| 2 |
| Yawangula Abamowabu n'abeebasa ku ttaka, n'abapimako n'akaguwa. Buli lwe yapimanga obuguwa obubiri, abo nga battibwa; akaguwa akookusatu gwe kaawererangako oyo ng'atalizibwa. Abamowabu ne bafuuka baweereza ba Dawudi ne bawa n'omusolo. |
| 3 |
| Dawudi yalwanyisa ne Adadeezeri mutabani wa Rekobu, kabaka w'e Zoba, lwe yali agenze okuzza mu mikono gye ensi y'oku mugga Furaati. |
| 4 |
| Dawudi n'amuwambako abeebagazi lukumi mu lusanvu, n'abatabaazi ab'ebigere emitwalo ebiri. Dawudi embalaasi zonna yazisala enteega, n'alekawo kikumi kyokka ez'oku bigaali. |
| 5 |
| Abaaramu b'e Damasiko bajja okudduukirira Adadeezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta mu Baaramu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri. |
| 6 |
| Dawudi yassa enkambi z'abatabaazi mu Aramu ekya Damasiko; Abaaramu ne bafuuka baweereza be, ne bawa n'omusolo. Omukama yawanguzanga Dawudi yonna gye yagendanga. |
| 7 |
| Dawudi yatwala engabo eza zaabu ezaalinga n'abagabe ba Adadeezeri, n'azireeta mu Yeruzaalemu. |
| 8 |
| Era Dawudi kabaka n'aggya ekikomo kingi nnyo mu Beta ne mu Berotayi, ebibuga bya Adadeezeri. |
| 9 |
| Towu kabaka w'e Kamati bwe yawulira nti Dawudi afufuggazza eggye lyonna erya Adadeezeri, |
| 10 |
| n'atuma mutabani we Yoramu ewa kabaka Dawudi, amulamuseeko era amukulise okulwanyisa Adadeezeri n'amuwangula, kubanga Adadeezeri yalinga alwanagana ne Towu. Kadoramu n'atwala ebintu bya ffeeza, ebya zaabu n'eby'ekikomo. |
| 11 |
| Nabyo kabaka Dawudi n'abisingira Omukama, okufaanana ne ffeeza ne zaabu okuva mu mawanga gonna ge yali awangudde bye yali amaze okusingira Omukama: |
| 12 |
| ebyava mu Aramu, mu Mowabu, mu Bammoni, mu Bafilisitiini, mu Amaleki ne mu munyago gwe yajja ku Adadeezeri mutabani wa Rekobu, kabaka w'e Zoba. |
| 13 |
| Era Dawudi yayitimuka lwe yadda ng'amaze okutta Abeedomu omutwalo gumu mu kanaana mu kiwonvu ky'Omunnyu. |
| 14 |
| Yassa enkambi z'abatabaazi mu Edomu wonna. Abeedomu ne bafuuka baweereza ba Dawudi. Omukama yawanguzanga Dawudi yonna gye yagendanga. |
| 15 |
| Dawudi n'afuga Yisirayeli yonna; era Dawudi yakoleranga abantu be bonna ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu. |
| 16 |
| Yowabu mutabani wa Zeruya nga y'aduumira eggye; Yosafati, mutabani wa Akiludi nga y'akuuma ebyafaayo; |
| 17 |
| Zadoki mutabani wa Akitubu ne Abiyatari mutabani wa Akimeleki nga be bakabona; Seraaya nga ye muwandiisi; |
| 18 |
| Benaaya mutabani wa Yoyada nga y'alabirira Abakereti n'Abapeleti; bo batabani ba Dawudi baali bakabona. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/2samuel/008.mp3
24
8