BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Dawudi n'agamba nti: “Wakyaliwo ow'ennyumba ya Sawulo asigaddewo mmugirire ekisa olw'okubeera Yonatani?” |
| 2 |
| Awo waaliwo omuweereza mu nnyumba ya Sawulo, erinnya lye Ziba. Ne bamutumya ajje ewa kabaka; Dawudi n'amubuuza nti: “Ggwe Ziba?” Ye n'ayanukula nti: “Ye nze, omuweereza wo.” |
| 3 |
| Kabaka n'amubuuza nti: “Wakyasigaddewo omulala ow'ennyumba ya Sawulo gwe nsobola okugirira ekisa kya Katonda?” Ziba n'agamba kabaka nti: “Wakyaliyo mutabani wa Yonatani; mulema amagulu gombi.” |
| 4 |
| N'agamba nti: “Ali ludda wa?” Ziba n'agamba kabaka nti: “Ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammyeli mu Lo-Debari.” |
| 5 |
| Kabaka Dawudi n'amutumyayo mu nnyumba ya Makiri, mutabani wa Ammyeli mu Lo-Debari. |
| 6 |
| Mefiboseti mutabani wa Yonatani, mutabani wa Sawulo, bwe yajja ewa Dawudi, n'agwa wansi ku maaso ge, n'amuvunnamira. Dawudi n'agamba nti: “Mefiboseti.” N'addamu nti: “Nzuuno omuweereza wo.” |
| 7 |
| Dawudi n'amugamba nti: “Leka kutya, kubanga nkukakasa nti nzija kukugirira ekisa olw'okubeera Yonatani kitaawo; nzija kukuddiza ennimiro zonna ezaali eza Sawulo jjajjaawo, era ojja kuliiranga ku mmeeza yange bulijjo.” |
| 8 |
| Mefiboseti n'avunnama, n'agamba nti: “Nze ani omuweereza wo, ggwe okussa omwoyo ku nze embwa enfu nga nze!” |
| 9 |
| Kabaka n'ayita Ziba omuweereza wa Sawulo, n'amugamba nti: “Byonna ebyali ebya Sawulo n'ennyumba ye yonna, mbiwadde muzzukulu wa mukama wo. |
| 10 |
| Kale nno ggwe n'abaana bo n'abaweereza bo mumulimire ennimiro ze, muleetenga amakungula, muzzukulu wa mukama wo afune emmere; ye Mefiboseti muzzukulu wa mukama wo ajja kulyanga ku mmeeza yange bulijjo.” Ziba yalina batabani be kkumi na bataano n'abaweereza amakumi abiri. |
| 11 |
| Ziba n'agamba kabaka nti: “Omuweereza wo ajja kutuukiriza byonna Mukama wange kabaka by'alagidde omuweereza we okukola.” Mefiboseti yaliiranga ku mmeeza ya kabaka, ng'omu ku batabani ba kabaka. |
| 12 |
| Mefiboseti yalina mutabani we omuto, erinnya lye Mika; bonna abaabeeranga mu nnyumba ya Ziba baaweerezanga Mefiboseti. |
| 13 |
| Ye Mefiboseti yasulanga mu Yeruzaalemu, kubanga bulijjo yaliiranga ku mmeeza ya kabaka; ate yali mulema amagulu gombi. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/2samuel/009.mp3
24
9