ku mawanga Mukama ge yagambako abaana ba Isiraeri nti Temugendanga mu bo so tebajjanga bo mu mmwe: kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe: Sulemaani ne yeegatta nabo ng'abaagala.
Kubanga olwatuuka Sulemaani ng'akaddiye bakazi be ne bakyusa omutima gwe okugoberera bakatonda abalala: omutima gwe ne gutatuukirira eri Mukama Katonda we nga bwe gwali omutima gwa Dawudi kitaawe.
Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti Kubanga okoze kino so tokutte ndagaano yange n'amateeka gange bye nnakulagira, sirirema kukuyuzaako obwakabaka ne mbuwa omuddu wo.
Ne bagolokoka okuva mu Midiyaani ne bajja e Palani: ne batwala wamu nabo abasajja nga babaggya e Palani ne bajja e Misiri eri Falaawo kabaka w'e Misiri; oyo n'amuwa ennyumba n'amulagira ebyokulya n'amuwa ensi.
Awo muganda wa Tapenesi n'amuzaalira Genubasi mutabani we Tapenesi gwe yaggira ku mabeere mu nnyumba ya Falaawo: Genubasi n'abeera mu nnyumba ya Falaawo mu batabani ba Falaawo.
Awo Kadadi bwe yawulirira mu Misiri nga Dawudi yeebakidde wamu ne bajjajjaabe, era nga Yowaabu omukulu w'eggye ng'afudde, Kadadi n'agamba Falaawo nti Ka ŋŋende ntuuke mu nsi y'ewaffe.
Awo olwatuuka mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yava mu Yerusaalemi, nnabbi Akiya Omusiiro n'amusanga mu kkubo; era Akiya yali ayambadde ekyambalo ekiggya; awo bombi ne baba bokka ku ttale.
N'agamba Yerobowaamu nti Weetwalire ebitundu kkumi: kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndiyuza mu bwakabaka ne mbuggya mu mukono gwa Sulemaani ne nkuwa ggwe ebika kkumi:
kubanga bandese ne basinza Asutaloosi katonda omukazi ow'Abasidoni ne Kemosi katonda wa Mowaabu ne Mirukomu katonda w'abaana ba Amoni; so tebatambulidde mu makubo gange okukola ebiri mu maaso gange ebirungi n'okukwata amateeka gange n'emisango gyange nga bwe yakolanga Dawudi kitaawe.
Ne mutabani we ndimuwa ekika kimu, Dawudi omuddu wange abeerenga n'ettabaaza ennaku zonna mu maaso gange mu Yerusaalemi ekibuga kye nneeroboza okuteeka omwo erinnya lyange.
Awo olulituuka bw'onoowuliranga byonna bye nkulagira n'otambuliranga mu makubo gange n'okolanga ebyo ebiri mu maaso gange ebirungi, okukwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange nga Dawudi omuddu wange bwe yakolanga; kale naabeeranga wamu naawe, era ndikuzimbira ennyumba ey'enkalakkalira nga bwe nnazimbira Dawudi, era ndikuwa Isiraeri.