Luganda Bible
|
| 1 |
| Lekobowaamu n'agenda e Sekemu: kubanga Isiraeri yenna baali bazze e Sekemu akumufuula kabaka. |
| 2 |
| Awo olwatuuka Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe Yakiwulira; (kubanga yali akyali mu Misiri gye yali addukidde okuva eri kabaka Sulemaani, era Yerobowaamu n'atuula mu Misiri), |
| 3 |
| ne batuma ne bamuyita; awo Yerobowaamu n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne bajja ne boogera ne Lekobowaamu nti |
| 4 |
| Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito: kale nno wewula ggwe okuweereza okuzibu okwa kitaawo n'ekikoligo kye ekizito kye yatuteekako, naffe tulikuweereza. |
| 5 |
| N'abagamba nti Mugende mumale ennaku ssatu nate, mulyoke mujje gye ndi nate. Abantu ne bagenda. |
| 6 |
| Kabaka Lekobowaamu n'ateesa ebigambo n'abakadde abaayimiriranga mu maaso ga Sulemaani kitaawe bwe yali ng'akyali mulamu ng'ayogera nti Magezi ki ge mumpa okubaddamu abantu bano? |
| 7 |
| Ne bamugamba nti Bw'onooyagala okuba omuddu eri abantu bano leero n'oyagala okubaweereza n'obaddamu n'obagamba ebigambo ebirungi, kale bo banaabanga abaddu bo ennaku zonna. |
| 8 |
| Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, n'ateesa n'abalenzi abaakulira awamu naye abaayimirira mu maaso ge. |
| 9 |
| N'abagamba nti Magezi ki ge mumpa mmwe tubaddemu abantu bano abaŋŋambye nti Wewula ekikoligo kitaawo kye yatuteekako? |
| 10 |
| Awo abalenzi abaakulira awamu naye ne bamugamba nti Bw'otyo bw'oba ogamba abantu bano abakugambye nti Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito, naye ggwe kiwewule gye tuli; bw'otyo bw'oba obagamba nti Nasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange. |
| 11 |
| Era nno kubanga kitange yababinika ekikoligo ekizito, nze ndyongera ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvula na nkoba, naye nze ndibakangavvula na njaba ez'obusagwa. |
| 12 |
| Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bajja eri Lekobowaamu ku lunaku olw'okusatu, nga kabaka bwe yalagira, ng'ayogera nti Mujjanga gye ndi nate ku lunaku olw'okusatu. |
| 13 |
| Awo kabaka n'addamu abantu n'ebboggo, n'aleka okuteesa kw'abakadde kwe baamuwa; |
| 14 |
| n'abagamba ng'okuteesa kw'abalenzi bwe kwali, ng'ayogera nti Kitange yafuula ekikoligo kyammwe ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvula na nkoba, naye nze ndibakangavvula na njaba ez'obusagwa. |
| 15 |
| Awo kabaka n'atawulira bantu; kubanga kyali kigambo Mukama kye yaleeta anyweeze ekigambo kye Mukama kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati mu mukono gwa Akiya Omusiiro. |
| 16 |
| Awo Isiraeri yenna bwe baalaba nga kabaka tabawulira, abantu ne baddamu kabaka nga boogera nii Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? so tetulina busika mu mutabani wa Yese: mudde mu weema zammwe, ai Isiraeri: labirira nno ennyumba yo ggwe, Dawudi. Awo Isiraeri ne bagenda mu weema zaabwe. |
| 17 |
| Naye abaana ba Isiraeri abaabeera mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga. |
| 18 |
| Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Adolamu eyali omukulu w'omusolo; Isiraeri yenna ne bamukasuukirira amayinja n'okufa n'afa. Kabaka n'ayanguwa okulinnya mu ggaali ye okuddukira mu Yerusaalemi. |
| 19 |
| Bwe batyo Isiraeri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi ne leero. |
| 20 |
| Awo olwatuuka Isiraeri yenna bwe baawulira nga Yerobowaamu akomyewo, ne batuma ne bamuyita okujja eri ekibiina, ne bamufuula kabaka wa Isiraeri yenna: tewaali eyagoberera ennyumba ya Dawudi wabula ekika kya Yuda kyokka. |
| 21 |
| Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya ennyumba yonna eya Yuda n'ekika kya Benyamini, abasajja abalonde kasiriivu mu obukumi munaana, abalwanyi, okulwana n'ennyumba ya Isiraeri, okumuddiza nate obwakabaka Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani. |
| 22 |
| Naye ekigambo kya Katonda ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nga kyogera nti |
| 23 |
| Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda n'ennyumba yonna eya Yuda ne Benyamini n'abantu bonna abalala nti |
| 24 |
| Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe abaana ba Isiraeri: muddeeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ekigambo kya Mukama ne baddayo ne bagenda ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali. |
| 25 |
| Awo Yerobowaamu n'azimba Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, n'abeera omwo; n'ava omwo n'azimba Penueri. |
| 26 |
| Yerobowaamu n'ayogerera mu mutima gwe nti Kaakano obwakabaka bunadda eri ennyumba ya Dawudi: |
| 27 |
| abantu bano bwe banaayambukanga okuweerayo ssaddaaka mu nnyumba ya Mukama mu Yerusaalemi, kale omutima gw'abantu bano gulikyukira nate mukama waabwe, Lekobowaamu kabaka wa Yuda; kale balinzita nze, ne baddayo eri Lekobowaamu kabaka wa Yuda. |
| 28 |
| Awo kabaka n'alyoka ateesa ebigambo, n'akola ennyana bbiri za zaabu: n'abagamba nti Kinaabalemanga okwambukanga e Yerusaalemi; laba bakatonda bo, ai Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri. |
| 29 |
| Naateeka emu mu Beseri ne ginnaayo naagiteeka mu Ddaani. |
| 30 |
| N'ekigambo ekyo ne kiba ekibi: kubanga abantu baagendanga okusinziza mu maaso g'emu nga bagenda e Ddaani. |
| 31 |
| N'azimba ennyumba ez'ebifo ebigulumivu, n'assaawo bakabona ng'abaggya mu bantu bonna abatali ba ku baana ba Leevi. |
| 32 |
| Era Yerobowaamu n'assaawo embaga mu mwezi ogw'omunaana ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano okufaanana embaga eri mu Yuda, n'alinnya eri ekyoto; bw'atyo bwe yakolera mu Beseri ng'awaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola: n'ateeka mu Beseri bakabona b'ebifo ebigulumivu be yassaawo. |
| 33 |
| N'alinnya eri ekyoto kye yali azimbye mu Beseri ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omunaana, gwe mwezi gwe yagunja mu mutima gwe ye; n'assaawo embaga eri abaana ba Isiraeri, n'alinnya eri ekyoto okwoteza obubaane. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/1kings/012.mp3
22
12