Era nate ekigambo kya Mukama ne kijja ku Baasa mu mukono gwa nnabbi Yeeku mutabani wa Kanani ne ku nnyumba ye olw'ebibi byonna bye yakola mu maaso ga Mukama okumusunguwaza n'omulimu gw'emikono gye ng'afaanana ennyumba ya Yerobowaamu era kubanga yamukuba.
Awo omuddu we Zimuli omukulu w'ekitundu ky'amagaali ge n'amwekobaana: era yali ali e Tiruza ng'anywa omwenge ng'atamiirira mu nnyumba ya Aluza eyali saabakaaki mu Tiruza:
Awo olwatuuka bwe yatanula okufuga, nga kyajje atuule ku ntebe ye, awo n'atta ennyumba yonna eya Baasa: teyamusigaliza mwana wa bulenzi, newakubadde ku nda ze newakubadde ku mikwano gye.
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda Zimuli n'afugira ennaku musanvu e Tiruza. Era abantu baali basiisidde okulwana ne Gibbesoni eky'Abafirisuuti.
Awo abantu abaali basiisidde ne bawulira nga boogera nti Zimula yeekobaanye era asse kabaka: Isiraeri yenna kyebaava bafuula Omuli omukulu w'eggye okuba kabaka wa Isiraeri ku lunaku olwo mu lusiisira.
Awo olwatuuka Zimuli bwe yalaba ng'ekibuga kimenyeddwa, n'ayingira mu kifo eky'ennyumba ya kabaka, ne yeeyokerera n'omuliro mu nnyumba ya kabaka n'afa,
olw'ebibi bye bye yayonoona ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kibi kye kye yakola okwonoonyesa Isiraeri.
Awo abantu ba Isiraeri ne baawulibwamu ebibiina bibiri: ekitundu ky'abantu nga bagoberera Tibuni mutabani wa Ginasi okumufuula kabaka; n'ekitundu nga bagoberera Omuli.
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu gumu ogwa Asa kabaka wa Yuda Omuli n'atanula okufuga Isiraeri n'afugira emyaka kkumi n'ebiri: yafugira emyaka mukaaga e Tiruza.
Kubanga yatambulira mu kkubo lyonna erya Yerobowaamu mutabani wa Nebati ne mu bibi bye bye yayonoonyesa Isiraeri okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri n’ebirerya byabwe.
Awo mu mwaka ogw'amakumi asatu mu munaana ogwa Asa kabaka wa Yuda Akabu mutabani wa Omuli n'atanula okufuga Isiraeri: Akabu mutabani wa Omuli n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyaka amakumi abiri mu ebiri.