Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo Eriya Omutisubi ow’e Tisubi mu Gireyaadi, n’agamba Akabu nti, “ Mukama Katonda wa Isirayiri gwe mpeereza nga bw’ali omulamu, tewaabe musulo newaakubadde enkuba mu myaka egijja wabula olw’ekigambo kyange.” |
| 2 |
| Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya nga kigamba nti, |
| 3 |
| “Vva wano ogende ebuvanjuba weekweke ku kagga Kerisi akoolekera Yoludaani. |
| 4 |
| Ojja kunywanga mu kagga, era ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisiza eyo.” |
| 5 |
| N’akola nga Mukama bwe yamulagira, n’alaga ku kagga Kerisi, akoolekera Yoludaani, n’abeera eyo. |
| 6 |
| Bannamuŋŋoona ne bamuleeteranga emmere n’ennyama buli nkya na buli kawungeezi, era n’anywanga mu kagga. |
| 7 |
| Bwe waayitawo ebbanga, akagga ne kakalira olw’obutabaawo nkuba mu nsi. |
| 8 |
| Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, |
| 9 |
| “Situkiramu ogende e Zalefaasi ekya Sidoni obeere eyo. Ndagidde nnamwandu ali eyo okukuwanga emmere.” |
| 10 |
| Awo n’agolokoka n’alaga e Zalefaasi. Bwe yatuuka ku wankaaki w’ekibuga, waliwo nnamwandu eyali alondalonda obuku. Eriya n’amusaba ng’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndeetera ku mazzi matono mu kibya nnyweko.” |
| 11 |
| Bwe yali ng’agenda okugakima, Eriya n’amukoowoola ng’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndeeteraayo n’omugaati.” |
| 12 |
| N’addamu nti, “ Mukama nga bw’ali omulamu, sirina mugaati okuggyako olubatu lw’obutta mu kibya n’otufuta mu kasumbi, era kaakano nkuŋŋaanya buku mbutwale eka neefumbire nze n’omwana wange tubulye tufe.” |
| 13 |
| Eriya n’amugamba nti, “Totya. Genda eka okole nga bw’ogambye. Naye sooka onfumbire akagaati, okuva mu by’olina okandeteere, oluvannyuma weefumbire ggwe n’omwana wo. |
| 14 |
| Kubanga kino Mukama Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Ekibya ky’obutta tekiriggwaamu, so n’akasumbi k’amafuta tekalikalira okutuusa olunaku Mukama lw’alitonyesa enkuba ku nsi.’ ” |
| 15 |
| N’agenda n’akola nga Eriya bwe yamugamba, era ne waba emmere bulijjo eya Eriya ne nnamwandu n’amaka ge. |
| 16 |
| Ekibya ky’obutta tekyakendeera wadde akasumbi k’amafuta okukalira, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Eriya bwe kyali. |
| 17 |
| Bwe waayitawo ebbanga, omwana wa nnamwandu n’alwala nnyo, obulwadde ne bweyongera okutuusa lwe yafa. |
| 18 |
| Nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kiki ky’onnanga, omusajja wa Katonda? Wajja okunzijukiza ekibi kyange n’okutta omwana wange?” |
| 19 |
| Eriya n’amuddamu nti, “Mpa omwana wo.” N’amuggya mu kifuba kye, n’amusitula n’amutwala mu kisenge ekya waggulu gye yabeeranga, n’amugalamiza ku kitanda kye. |
| 20 |
| N’akoowoola Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, ne nnamwandu ono gwe mbeera naye omuleeseko ekikangabwa kino, n’otta omwana we?” |
| 21 |
| Eriya ne yeegololera ku mulenzi emirundi esatu, n’akaabira Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, obulamu bw’omulenzi ono bukomewo nate!” |
| 22 |
| Mukama n’awulira okukaaba kwa Eriya, obulamu bw’omulenzi ne bumuddamu, era n’alama. |
| 23 |
| Awo Eriya n’asitula omwana n’amuserengesa okuva mu kisenge n’amuleeta mu nnyumba, n’amuwa nnyina, n’amugamba nti, “Laba mutabani wo mulamu!” |
| 24 |
| Awo nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kaakano ntegedde ng’oli musajja wa Katonda, era n’ekigambo kya Mukama ekiva mu kamwa ko kiba kya mazima.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/1kings/017.mp3
22
17