Awo olwatuuka ennaku nnyingi bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kimujjira Eriya mu mwaka ogw'okusatu nga kyogera nti Genda weerage eri Akabu; nange nditonnyesa enkuba ku nsi.
Kale olulituuka nga kyenjije nkuveeko kale omwoyo gwa Mukama gunaakutwala gye simanyi; kale bwe ndituuka ne mbuulira Akabu n'atayinza kukulaba, alinzita: naye nze omuddu wo ntya Mukama okuva mu buto bwange.
Kale nno tuma okuŋŋaanyize gye ndi Isiraeri yenna ku lusozi Kalumeeri ne bannabbi ba Baali ebikumi bina mu ataano ne bannabbi ba Baaseri ebikumi bina abalya ku mmeeza ya Yezeberi.
Awo Eriya n'asemberera abantu bonna, n’ayogera nti Mulituusa wa okutta aga n'aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, mumugoberere: naye oba Baali, kale mumugoberere ye. Abantu ne batamuddamu kigambo.
Kale batuwe ente bbiri; beeroboze eate emu okuba eyaabwe, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, so tebateeka muliro wansi: nange naalongoosa ente ey'okubiri, ne ngiteeka ku nku, ne siteeka muliro wansi.
Ne baddira ente gye baaweebwa, ne bagirongoosa, ne bakaabirira erinnya lya Baali okuva enkya okutuusa ettuntu, nga boogera nti Ai Baali, tuwulire. Naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu. Ne babuuka awali ekyoto ekyakolebwa.
Awo olwatuuka mu ttuntu Eriya n'abaduulira n'ayogera nti Mwogerere waggulu: kubanga katonda; oba afumiitiriza oba akyamye oba ali mu lugendo oba mpozzi yeebase, kigwanidde okumuzuukusa.
Awo olwatuuka mu kiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi Eriya nnabbi n'asembera n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isiraeri, kitegeerebwe leero nga ggwe Katonda mu Isiraeri, era nga nze ndi muddu wo, era nga nkoze bino byonna lwa kigambo kyo.
N'agamba omuddu we nti Yambuka nno olengere awali ennyanja. N'alinnya n'alengera n'ayogera nti Tewali kintu. N'ayogera nti Genda nate emirundi musanvu.