era okwatanga Mukama Katonda wo bye yakukuutira, okutambuliranga mu makubo ge; okukwatanga amateeka ge, n'ebiragiro bye, n'ebyo bye yategeeza, ng'ebyo bwe biri ebyawandiiltibwa mu mateeka ga Musa, olyoke olabenga omukisa mu byonna by'okola, na buli gy'onookyukiranga:
Mukama anyweze ekigambo kye kye yayogera ku nze nti Abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, okutambuliranga mu maaso gange mu mazima n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna, tewaakubulenga (bw'atyo bwe yayogera) omusajja ku ntebe ya Isiraeri.
Nate omanyi n'ekyo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya kye yankola, kye yakola abakulu ababiri ab'eggye lya Isiraeri, Abuneeri mutabani wa Neeri ne Amasa mutabani wa Yeseri, be yatta n'ayiwa omusaayi ogw'omu ntalo mu mirembe, n'asiiga omusaayi ogw'omu ntalo ku lukoba lwe lwe yali yeesibye mu kiwato ne mu ngatto ze ezaali mu bigere bye.
Era, laba, waliwo naawe Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow'e Bakulimu, eyankolimira ekikolimo ekizibu ku lunaku kwe nnagendera e Makanayimu: naye n'aserengeta okunsisinkana ku Yoludaani ne mmulayirira Mukama nga njogera nti Sijja kukutta na kitala.
Kabaka Sulemaani n'addamu n'agamba nnyina nti Era kiki ekikusabya Abisaagi Omusunammu olwa Adoniya? musabire n'obwakabaka; kubanga ye muganda wange omukulu; sabira ye ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya.
Kale nno nga Mukama bw'ali omulamu, annywezezza n'antuuza ku ntebe ya Dawudi kitange, era ampadde ennyumba, nga bwe yasuubiza, mazima Adoniya anattibwa leero.
Kabaka n'agamba Abiyasaali kabona nti Genda e Anasosi mu byalo byo ggwe; kubanga osaanidde okufa: naye siikutte mu biro bino, kubanga wasitulanga essanduuko ya Mukama Katonda mu maaso ga Dawudi kitange, era kubanga wabonyaabonyezebwa mu byonna ebyabonyabonya kitange.
Ebigambo ebyo ne bituuka eri Yowaabu: kubanga Yowaabu yali akyuse okugoberera Adoniya, newakubadde nga teyagoberera Abusaalomu. Yowaabu n'addukira mu Weema ya Mukama, n'akwata ku mayembe g'ekyoto.
Ne babuulira kabaka Sulemaani nti Yowaabu addukidde mu Weema ya Mukama, era laba, ali ku kyoto. Awo Sulemaani n'atuma Benaya mutabani wa Yekoyaada ng'ayogera nti Genda omugweko.
Benaya n'atuuka ku Weema ya Mukama, n'amugamba nti Kabaka bw'ayogera bw'ati nti Fuluma. N'ayogera nti Nedda; naye naafiira wano. Benaya n'addiza kabaka ebigambo ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogedde Yowaabu, era bw'anzizeemu bw'atyo.
Awo kabaka n'amugamba nti Kola nga bw'ayogedde, omugweko omuziike; oggyewo omusaayi, Yowaabu gwe yayiwa awatali nsonga, ku nze ne ku nnyumba ya kitange.
Bwe gutyo omusaayi gwabwe gulidda ku mutwe gwa Yowaabu ne ku mutwe gw'ezzadde lye ennaku zonna: naye eri Dawudi n'eri ezzadde lye n'eri ennyumba ye n'eri entebe ye, eribaayo emirembe ennaku zonna okuva eri Mukama.
Awo olwatuuka emyaka esatu bwe gyaggwaako, abaddu ababiri aba Simeeyi ne badduka ne bajja eri Akisi mutabani wa Maaka kabaka w'e Gaasi. Ne babuulira Simeeyi nti Laba, abaddu bo bali e Gaasi.
Kabaka n'atuma n'ayita Simeeyi n'amugamba nti Saakulayiza Mukama ne nkutegeereza ddala nga njogera nti Tegeerera ddala nga ku lunaku kw'oliviirayo n'otambula okugenda yonna yonna, tolirema kufa? n'oŋŋamba nti Ekigambo kye mpulidde kirungi.